
Enkiiko zaatandise okutuula omwezi oguwedde ng'abeekisinde kya DP (DP Block) baakamala okwanjula Chameleone era Pulezidenti wa DP n'alangirira nga bw'amuwadde ekifo ky'omukunzi akolera wansi wa ofiisi ya Pulezidenti Genero w'ekibiina.
Chameleone naye olwamwanjula mu DP n'alaga nti ayagala kuvuganya ku bwa Loodi Meeya era ayagala kukolera mu kisinde kya People Power ekya Bobi Wine. Wabula kigambibwa nti abamu ku bali mu nkambi ya Bobi Wine ne bamwekengera nga bagamba nti bamumanyi bulungi azze akyukakyuka, akolagana n'aba NRM ate abalala ne bagattako nti atambulira ku ssente ekiyinza okumulemesa okulemera ku mulamwa.
Chameleone eggulo bwe yabadde ayogerera mu lukiiko aba DP mwe basisinkanira bannamawulire yagambye nti baabadde mu kafubo ne Hon. Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) gwe yasisinkanye mu maka ge e Magere mu Wakiso ku Ssande ne boogera ku nsonga z'ebyobufuzi.
• Obukwakkulizo Bobi Wine bwe yawadde Chameleone kuliko okusooka okukubayo oluyimba oluvumirira ebikolwa ebibi by'alaba mu gavumenti ya NRM. Wabula Chameleone bwe yabadde mu lukiiko yagambye nti akakwakkulizo kano teyakategedde bulungi kubanga azze akuba ennyimba nnyingi ezikolokota embeera embi n'anokolayo Mwoto Mwoto Leero, Wale Wale n'endala; wabula n'agamba nti ekyo tekigenda kumukaluubiriza, agenda kukubayo oluyimba olulala.
• Ensonda mu kafubo ka Bobi Wine ne Chameleone zaategeezezza nti akakwakkulizo akalala ke baamuteereddewo ka butataataaganya bantu mu People Power naddala abakulembeze abaayingira edda.
• Kigambibwa nti baamutaddeko n'akakwakkulizo k'okukendeeza enkolagana ye n'abanene mu NRM ne banokolayo enkolagana ye ne Gen. Salim Saleh gye bagamba nti eyinza okumuggya ku mulamwa. Abamu ku bali mu nkambi ya Bobi baabadde n'okwekengera nti Chameleone yandiba nga yasindikiddwa acankalanye enkolagana ya People Power ne DP Bloc.
• Baamutaddeko n'akakwakkulizo k'okwewala pokopoko atabangula enkambi.
Oluvannyuma Fred Nyanzi (muganda wa Bobi) yagenze mu lukiiko olulala n'aba DP Bloc olwatudde e Kamwokya okwongera okuteesa ku ngeri gye banaatambulira awamu. Aba DP Bloc oluvannyuma baayise Chameleone ayogerere mu lukiiko lwabwe eggulo ku nteekateeka z'okukunga abantu.
POLIISI ENYIZE CHAMELEONE NE YEETONDA
Bwe yabadde ava mu lukiiko lwa DP ku City House, Chameleone yatambudde n'abawagizi be ku nguudo za Kampala era abantu bwe baatandise okukuhhaana, poliisi n'ebataayiza.
Poliisi yagenze okumutaayiza, ng'abantu bamukuhhaaniddeko. Olwo yalinnya waggulu ku mmotoka era awo poliisi we yamutuukiddeko n'emulagira awanukeyo.
Okukkakkana nga baamulinnyisizza kabangali ya poliisi okumutwaala ku CPS . Baamuyimbudde ne bamulagira adde ewuwe mu kasirise.