TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya Kiwaatule Recreation Center atabudde abazadde

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya Kiwaatule Recreation Center atabudde abazadde

Added 17th July 2019

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation Center ewa Bebe Cool ne kitaawe Bidandi Ssali ekyatabudde abazadde, Poliisi n’abatuuze.

 
Josephat Waiswa Wambi 11, abadde asoma P6 yafiiridde mu kidiba ku Lwokutaano bwe yabadde agenze ne Nakato okuwuga.
 
Kigambibwa nti kitaabwe Ssaalongo Bernard Muyanda ye yabatutte ku ssaawa nga 9:00 ez'olweggulo okuwuga era n'abakwasa abaddukanya ekifo kino nga yali waakubakima ku ssaawa 11:00 ez'olweggulo.
 
Bwe baatuuse, buli mwana yagenze mu kasenge kake okweyambula bagende bawuge. Kyokka oluvannyuma lw'okuwuga, Nakato yagenze kitaabwe gye yabadde abagambye okubasisinkana nga Waiswa taliiwo n'abuuza omu ku bakozi oba yabadde amulabyeko. Naye kwe kumugamba nti yabadde alowooza nti y'ali naye.
 
Mu kiseera ekyo nga banoonya Waiswa, ne kitaabwe we yatuukidde okubuuza omulongo nga talabikako. Abaddukanya ekifo baamutegeezezza nti alabika agenze n'abayizi b'amasomero amalala abaabadde mu kuwuga.
 
Baafubye okunoonya omwana mu buli kasonda nga bayambibwako abakugu mu kuwuga ne bakka mu bidiba byonna, mu kaabuyonjo, mu bimotoka ebikadde na buli kasonda ng'omwana taliimu.
 
Abaddukanya ekifo kwe kugumya Ssaalongo alindemu okutuuka ku ssaawa 3:00 ez'ekiro ng'amasomero gonna gatutte abayizi baago balabe oba nga balina omuyizi atali waabwe kuba baali babakubidde amasimu.
 
BWE BAAZUDDE OMULAMBO
 
Ekyewuunyisizza abazadde n'abatuuze ku ssaawa nga 2:00 ez'ekiro poliisi y'e Kira yabakubidde essimu nti, omwana waabwe azuuliddwa ng'afiiridde mu kidiba era omulambo guli mu ggwanika e Mulago.
 
Mu kiseera ekyo kigambibwa nti, Nnaalongo Josephine Namanda nnyina w'omwana yabadde ava ku poliisi y'e Ttuba etwala ekitundu mwe babeera okuloopa omusango gw'okubula kw'omwana waabwe n'ategeezebwa nti poliisi y'e Kiwaatule y'erina obuvunaanyizibwa ku kitundu ekyo.
 
Abazadde bwe baabakubidde, baasoose kwewuunaganya lwaki poliisi ya Kira Road y'ebakubidde ssimu ng'ate ku poliisi y'e Ttuba baabagambye balina kuloopa ku poliisi y'e Kiwaatule.
 
Poliisi ya Kira Road okuyingira mu nsonga, abaserikale b'e Kiwaatule baamala kukuba ssimu nga bategeeza poliisi enkulu etwala ekitundu kyonna ku kyali kituuseewo.
 
Ekyewuunyisa, emisana baakebedde ebidiba byonna ng'omwana taliimu kyokka ekiro, laba bwe bamuzuula mu kidiba ky'abakulu.
 
ANI YATUTTE ENGOYE ZA WAISWA?
 
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luce Owoyesigyire yagambye nti, omulambo gwa Wambi baagusanze teriiko wadde olugoye.
 
Mukasa yagambye nti, nabo beewuunya engeri Wambi gye yatuuse mu kidiba ky'abantu abakulu kubanga ebidiba byonna baali babinoonyezzaamu omwana n'ababula kyokka ekiro ng'abantu bonna bagenze ne bamuzuula.
 
Omusango gw'okufa kw'omuntu gwagguddwaawo ku fayiro CRB 88/2019 ku poliisi y'e Kiwaatule ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso ate Waiswa, 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...