TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugingo asekeredde abaamututte mu kakiiko ka UCC: 'Sirina muntu gwentya'

Bugingo asekeredde abaamututte mu kakiiko ka UCC: 'Sirina muntu gwentya'

Added 18th July 2019

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu gw’atya.

 Paasita Bugingo

Paasita Bugingo

Yasekeredde abamututte mu kakiiko akaluhhamya ebiweerezebwa ku mpewo mu ggwanga (UCC).

Jane Werikhe Kazibwe yatutteyo ekiwandiiko ng'ayagala akakiiko kawe ekiragiro ekigaana Bugingo okuddamu okwogera ku mukyalawe Teddy Naluswa. Yagambye nti bano abasaasira.

Kubanga abantu ab'endowooza eyo tebajja kumulemesa kugenda mu maaso na kuwa ndowooza ye ku nsonga z'alaba nti asaanidde okuzoogerako kubanga by'ayogera abitegeera era abeera akimanyi nti ayogera kituufu nga tewali musango gw'azzizza.

Yakyukidde ekibiina kya The Bible Society of Uganda abaavaayo ne bamunenya olw'okuyuza empapula mu bayibuli n'agamba nti ke yazzeeyo n'asoma bayibuli ate kati kafulu mu kutaputa ebyawandiikibwa era mwetegefu okusomesa buli muntu anavaayo okuwakanya ebikyamu by'agenda aggyayo ebiri mu bayibuli ezitundibwa.

Agamba nti bayibuli nnyingi ezaakyusibwa okuzizza mu nnimu ennansi abaakikola baalekayo ennyiriri ez'amakulu eziyinza okuyambako okusomesa ekigambo kya Katonda ekituufu.

Wano kwe kulangirira nti ssinga Katonda anaamuwangaaza wakuleeta ekyuma ye addemu akyuse bayibuli eyiye mu Luganda era ateekemu ennyiriri zonna ezaasuulibwa ebbali abo abasooka okugikyusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...