TOP

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga abantu 17

Added 18th July 2019

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako era olwakalaba ne nzirukira e Kabale. ‘Yala’ (ebbula lya ssente) bwe zankubye ne nsalawo nkomewo e Kampala ‘nneeyiiye’ nga ndowooza embeera ekkakkanye, naye ne ngwa mu mbi!

Agambibwa okuba Omutemu era omubbi Mugisha. Kkamera nga bwe yakwata Mugisha ng’atuga Mulindwa.

Agambibwa okuba Omutemu era omubbi Mugisha. Kkamera nga bwe yakwata Mugisha ng’atuga Mulindwa.

OMUSAJJA gwe balumiriza nti ye yalabikira mu katambi ng'atuga owa bodaboda, bamwogezza engeri gy'azze atta abavuzi ba pikipiki.

Wakati mu kumubuuza akana n'akataano, abaserikale kyabaweddeko ng'abategeezezza nti ekibinja mw'akolera kyakatta abantu 17 era abasinga babattidde mu Kampala, Wakiso ne Mukono.

Olwamaze okumukwata aba poliisi ne bamubuuza nga bw'abaanukula. Omu ku ba poliisi yattottoledde Bukedde engeri omuvubuka ono bwe yabaanukudde bye baabadde bamubuuza. Yabadde abaanukula akozesa Luganda kyokka nga bw'agattamu ‘Oluyaaye'

Poliisi: Amannya go ggwe ani?

Omusibe: Nze John Bosco Mugisha naye babadde basinga kumpita Mukiga.

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa?

Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako era olwakalaba ne nzirukira e Kabale. ‘Yala' (ebbula lya ssente) bwe zankubye ne nsalawo nkomewo e Kampala ‘nneeyiiye' nga ndowooza embeera ekkakkanye, naye ne ngwa mu mbi!

Omuvubuka ono yakkirizza nti y'alabikira mu katambi era n'ategeeza abaserikale nti ye yatuga Derick Mulindwa e Lubaga mu Kampala era oluvannyuma munne gwe yayogeddeko nti, yeekazaako erya Mulo Young (atali muyimbi) n'akuba Mulindwa ekyuma ku mutwe n'amumaliriza era pikipiki ne bagitwala.

Yagambye nti baanyiiga nnyo nga balabye akatambi akaasaasaana era abadde aluka lukwe lulala olunoonya omuntu gwe bateebereza okusaasaanya akatambi ako nti bamukoleko.

Omuvubuka ono yabadde ayogera talina nsisi yonna era yategeezezza poliisi nti ekibinja kyabwe kyakatuga abavuzi ba bodaboda 17 nga babatwalako bodaboda zaabwe. Baakizudde nti azze ayimbulwa okuva e Luzira enfunda nnyingi gye babadde bamusibira ku misango gy'obubbi.

Yagambye nti bannaabwe abamu abali mu kibinja bazze battibwa era oluvannyuma baakisalira amagezi ne balekera awo okugenda ku siteegi okupangisaawo pikipiki ze banabba, era kye bakola kwe kuyimiriza ezo eziba zitambula naddala ze baba balabye nga mpya.

Beewala okutambula n'ekissi kyonna kubanga baakizuula nti, olumu aba bodaboda bwe beekengera omuntu bamwaza era bwe bamusanga n'ekissi kyonna, obubwe nga bukomye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...