TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni mu kalulu ka 2021

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni mu kalulu ka 2021

Added 18th July 2019

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi, ehhoma, effumu n’engabo ne bamulagira atabaale ku lukalu ne ku mazzi mu kalulu ka 2021.

Pulezidenti (ataddeko enkoofiira) ng’abuuza Ssemakula Luttamaguzi. Okuva ku ddyo ye minisita Kasolo, Persis Namuganza, Anita Among, Nakiwala Kiyingi ne Hajji Abdul Nadduli

Pulezidenti (ataddeko enkoofiira) ng’abuuza Ssemakula Luttamaguzi. Okuva ku ddyo ye minisita Kasolo, Persis Namuganza, Anita Among, Nakiwala Kiyingi ne Hajji Abdul Nadduli

Baabadde ku kisaawe ky'e Ngoma mu disitulikiti y'e Nakaseke, Pulezidenti gye yakubye olukuhhaana lw'okwebaza abaayo n'abantu ba Buganda bonna olw'okumuwagira mu lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza.

Yagambye nti abantu b'e Nakaseke ne Luweero mu lutalo baamuwa ente 20,000 abalwanyi ze baalya era ng'ajjukira nti omuntu eyasooka okumuwa ente baali bamuyita Bagarukayo eyamuwa ente eziwerera ddala 57.

Okumanya ng'abantu baamulaze okwagala baamukwasizza n'ente 32 ze baaleetedde ku loole ne bamugamba nti mu lutalo baamuwanga mu nkukutu, kwe kusalawo okumwongera endala nga waliwo kkamera.

 ulezidenti ataddeko enkoofiira nababaka ba alamenti kuva ku kkono ye imeo subuga argaret omuhangi illian akate oseph asozi arah ajjuma aruna asolo issy amuju uyanja babaali braham yandala umama samba ne udith abakooba Pulezidenti (ataddeko enkoofiira) n'ababaka ba alamenti. Okuva ku kkono ye; Simeo Nsubuga, Margaret Komuhangi, Lillian Nakate, Joseph Kasozi, Sarah Najjuma, Haruna Kasolo, Cissy Namuju, Muyanja Mbabaali, Abraham Byandala, Kumama Nsamba ne Judith Nabakooba.

 

Ssentebe wa disitulikiti y'e Nakaseke, Ignatius Koomu yasiimye Pulezidenti olwenkulaakulana gyabawadde mu kitundu ng'ebyuma ebikola enguudo n'ebirala.

Yamusabye okubafunira ekyuma ekirongoosa amata n'ekyuma ekikola kaawa ava mu mmwaanyi.

Yamusabye n'okusuumusa obubuga bwe Kapeeka ne Nakaseke bufuulibwe munisipaali kubanga gye yalwanira. Kino Museveni yakiwagidde n'abawa amagezi olukiiko lwa disitulikiti okutuula bakiyise mu bwangu kuba kigwanidde.

Museveni yeebazizza ab'e Nakaseke olw'okulonda NRM bulijjo, kyokka n'abanenya olwekwerumaaluma kw'aba NRM ekyabatuusa okusuula obululu mu nsiko bwe baalonda Luttamaguzi Ssemakula ku bubaka bwa palamenti.

 bantu nga baaniriza ulezidenti e akaseke Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Nakaseke.

Abakulembeze abaakuh− haanye baavudde mu disititulikiti eziwera kkumi okwabadde; Nakaseke, Nakasongola, Mukono, Kayunga, Buikwe, Gomba, Butambala, Mpigi, Kyankwanzi ne Luweero.

Ababaka ba Buganda abaakulembeddwamu James Kakooza owa Kabula baaweze mu maaso ga Pulezidenti nti tebaakoma ku kyakuggya kkomo ku myaka gya pulezidenti, kyokka era bagenda kutambula naye mu Buganda yonna nga bakakasa abantu nti tebaakikola mu nsobi.

Abakulembeze okuva mu disitulikiti zonna 10 zaayisizza ekiteeso ekisemba Yoweri Museveni yeesimbewo ku lwa NRM mu kulonda kwa 2021 nga tavuganyiziddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...