TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu ekibonerezo ku looya Kintu Nteza

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu ekibonerezo ku looya Kintu Nteza

Added 18th July 2019

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri ekyali kiweereddwa munnamateeka Felix Kintu Nteza owa Kintu Nteza & Co. Advocates obutaddamu kuwoza musango gwonna.

 Felix Kintu Nteza owa Kintu Nteza & Co. Advocates

Felix Kintu Nteza owa Kintu Nteza & Co. Advocates

Bino bya badde mu kkooti ekwasisa bannamateeka empisa ku Goergina House mu Kampala ng'eno yakubiriziddwa ssentebe w'akakiiko kano Bruce. K. Kyerere.

Ssentebe bwe yabadde awa ensala ye yategeezezza ng'akakiiko bwe kaali katawulirizza kwewozaako kwa Nteza nga kino kyaggye Ddumba n'abantu mu mbeera nga bagamba nti si bamativu ne nsalawo y'akakiiko.

Akakiiko okuwa ensala yaako kiddiridde Nteza okujulira ng'awakanya engeri akakiiko gye kaasalawo okumuyimiriza nga tategeezeddwa yadde okuweebwa omukisa okwewozaako mu musango ogwamuwawaabirwa Hajji Abdul Ddumba ogw'okuzimba ku ttaka ly'agamba nti lirye.

Mu March w'omwaka guno, Ddumba yaddukira mu kakiiko kano ne yeekubira enduula ng'alumiriza Nteza okuzimba kalina ku ttaka lye erisangibwa e Bunnamwaya ku bbulooko 265.

Wabula bino Nteeza yabijungulula n'ateegeza ng'akakiiko bwe kataamuwa mukisa kwewozaako Ddumba n'atuuka n'okukakozesa okumwononera erinnya ng'ayita mu kupanga abajulizi be yaleeta mu kakiiko n'okumwesibako nti yali munnamateeka we.

Nteza yasiimye akakiiko olw'okulaba amazima era ne kamwejjeereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...