TOP

Bugingo bamuyise ku poliisi ne bamukunya

Added 19th July 2019

PAASITA Aloysius Bugingo avudde ku poliisi ya CPS mu Kampala nga bimusobedde olw’obukwakkulizo poliisi bwe yamutaddeko omuli n’okumulabula bw’atakomya kwogera bintu bisasamaza bantu ekkanisa ye bwe bandigiggala olw’okuteeka ebyokwerinda by’ekibuga ku bunkenke.

 Kafeero ne Bugingo

Kafeero ne Bugingo

Bugingo yeeyanjudde ku CPS mu ofiisi y'omuduumizi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Moses Kafeero Kabugo ku Lwokubiri akawungeezi.

Kigambibwa nti, Bugingo bwe yabadde tannatuuka ku CPS, waasooseewo akafubo mu ofiisi ya Kafeero akaabaddemu omuduumizi w'ebikwekweto by'amagye mu Kampala, Maj. Gen. Samuel Kawagga n'omuduumizi wa Miritale, Brig. William Bainomugisha.

Ensonda ku CPS zaategeezezza nti, Bugingo yatuuse ku CPS wakati w'essaawa 12:00 ne 1:00 ey'akawungeezi.

Yabadde awerekeddwaako abasumba abakulu mu kkanisa ye ne bannamateeka be ne bagenda butereevu mu ofiisi ya Kafeero eyamuyise okubaako byannyonnyola ku mbeera eyabadde mu kibuga ku Mmande ng'abakazi beegugunga.

Kafeero yalabudde Bugingo obutaddamu kwogera bigambo bisasamaza bakazi ebiyinza okuvaako ebyokwerinda by'ekibuga okubeera ku bunkenke.

Ono yamubuulidde engeri ekibuga gye kibadde kikkakkanyeemu nga temukyalimu bujagalalo bwonna na kwegugunga n'amugamba nti, tebaagala bujagalalo kudda mu Kampala nga busibuka mu kkanisa ye.

Yamuwadde amagezi ensonga ze ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo gattako muwala we Doreen Gift Bugingo okuzikwata mu ngeri ya kisajja kikulu.

Yagambye nti, ensonga za famire tezisaana kwanika mu lujjudde n'amulabula obutaddamu kwogera kintu kyonna ku famire ye ng'ali ku katuuti mu kkanisa ye eya House of Prayer Ministries International e Makerere.

Ensonda ku CPS zaategeezezza nti, bakira Kafeero annyonnyola nga Bugingo awuliriza bw'awuuna olwamaze ne yeetonda olw'embeera eyabaddewo ku Mmande egambibwa nti, yavudde ku bigambo bye yayogera ng'alumba mukazi we nti yalina ekikulukuto okumala emyaka 10.

Kyategeezeddwa nti, Bugingo yagambye Kafeero nti, teyagenderera kuvvoola Teddy era bye yayogera yali tamuvvoola kubanga biri mu bujulizi Teddy kennyini bwe yeewaako mu kkanisa ng'abantu bonna bawulira kyokka n'asuubiza okugondera ebiragiro ebyamuweereddwa poliisi.

Bugingo yamaze akaseera akawerako mu ofiisi ya Kafeero ng'amameeme gamukuba kyokka oluvannyuma, Kafeero yamutegeezezza nti teyabadde mukwate era yabadde amuyise kubaako bye bakkaanyako.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, Bugingo kituufu yeeyanjula nga bwe yali ayitiddwa ku Lwokubiri n'asisinkana Kafeero eyali amuyise n'amulabula okukomya okwogera ebintu ebitanula abakazi okwegugunga n'okuggya ensonga za famire ye mu lujjudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...