TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata vidiyo kata bafe emisito g'ennyama

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata vidiyo kata bafe emisito g'ennyama

Added 19th July 2019

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa n’ebyokunywa bonna nga bagamba kimu nti taata weebale kugabula.

Bano babadde ku situdiyo za Jah Live ezisangibwa ku Salama Road ng'omukwasi wa vidiyo amanyiddwa nga Frank Jah ali mukukwata vidiyo y'oluyimba lwe luno olwa "Ndyeno Olyeyo"olwakoleddwa Daddy Andre.

alt=''

Vidiyo eno baagitaddemu esswaga nga baasose kugabula kimere bonna abaabaddewo wamma ggwe we baatuukidde ku kinyusi nga buli omu tatoma nga amaanyi mangi ng'enjogera y'ennaku zino.

Okukwata vidiyo kwatandise ssawa 2 ez'ekiro nekukomekereza ssawa 8 ogw'ekiro wabula nga buli aliwo tatoma akanya kwebaza Prince Omar.

 

Oluvannyuma lw'okukwata vidiyo baasaze embuzi ne balya nga kwebatadde n'okunywa.

Oluyimba luno lwe yakoze lwa mukwano era nga lulaga omuntu ayagala munne wabula nga gw'ayagala ali bunaayira tasobola kumufuna .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...