TOP

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Added 20th July 2019

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

 Mugeni bw’afaanana.

Mugeni bw’afaanana.

Mu 2017 Deogratiuos Mugeni ow'e Bweyogerere Kakajjo Zooni yasimattukira watono okuttibwa ababbi ba pikipiki. Baamukuba ennyondo ezisoba mu ttaano ku mutwe wabula ne yeerwanako n'abeesimattulako n'adduka, wabula pikipiki ne bagitwala.

Attottola nti: Omusajja eyantuusa ku bino nnamusanga agudde ku kkubo nga yeefudde olumbe gwe lukubye wansi era ayagala obuyambi okuliraana ekikubo ekigenda mu Ggwaatiro Hospital e Bweyogerere era ne muyamba n'atuula ku pikipiki yange ne mutwala ku ddwaaliro oluvannyuma lw'okundaajanira.

Essaawa zaali mu 5:00 ez'ekiro era omusajja bwe nnamutuusa ku ddwaaliro yansaba okumulindako ku ggeeti era munda yamalayo eddakiika nga 20 era nnali nsazeewo nsimbule hhende mmuleke kumbe ye yali alina waali nga alabika ambaza nze kye saamanyirawo.

Nnali nsimbula pikipiki yange nneeyongereyo, awo we yafulumira n'addamu okundaajanira nti, "Musajja munnange tondeka, obudde bugenze nnyamba ontuuse awaka nneme kunoonya bodaboda ndala". Yatuula ne tutambula nga bwe tunyumya era saalinamu kwekengera kwonna kubanga mu mboozi ze yali alaga nti muntumulamu talina buzibu bwonna.

Yatuuka n'okumbuuza nti, "Musajja munnange ng'okola kiro bulala, ggwe totya kufa; aba bodaboda nga babakuba ennyondo enkya n'eggulo? Namuddamu kimu nti munange Mukama y'akuuma kumbe ye yennyini ye yali ategese okummaliriza. Bwe nnamutuusa e Kireka twayambuka ku kikubo ky'e Kamuli nga bw'andagirira gye yali agamba gy'asula kumbe antwala mu kattiro kaabwe.

Bwe nnamutuusa ku Klezia ya St. Gonzaga we twawetera era nnavugako katono mu maaso we nasanga munne eyali alina ennyondo era tuba tunaatera okumutuukako, gwe nnali mpeese ky'ava antegeeza nti akoma mu maaso g'omusajja oyo.

Olwayimirira, omusajja eyali ku kkubo n'anva emabega n'ankuba ennyondo ku mutwe ne ngwa wansi. Bankubirawo ennyondo awo wansi wabula ne nneekakaba ne nfubuttuka ne nneesogga ensiko era baagezaako okungoba wabula bwe baalaba mbuliddeyo, ne basimbula pikipiki ne babulawo.Okuva olwo pikipiki saddamu kugirabako.

Oluvannyuma neewalula ne nzira ku kkubo nsobole okufuna obujjanjabi, era abaserikale abaali bakola ku mulimu gw'okulawuna be bansanga nga nvaamu omusaayi omuyitirivu ne bantwala mu ddwaaliro lya Ggwaatiro we nnaggya omusajja era eyo gye nnafunira obujjanjabi.

Kati nnasigaza nkovuekyo kyama kye. Yazzeemu n'akikkaatiriza nti abadde asinga kukolagana ne munne ‘Young Mulo' ng'ono yattibwa e Makindye gye baali bagenze okubba pikipiki kyokka kyo ekitongole kya CMI eky'okutta Young Mulo kibiwakanya nga kirumiriza nti kyamukutte kimulina.

Bino byonna Mugisha obwedda abyogera ng'alina akamwenyumwenyu ku matama ng'alaga nti tewali kye bayinza kumukolako kubanga eby'okumusiba yabimanyiira. Mugisha yakwatibwa ku Lwokubiri mu Ndeeba mu Nsiike Zooni nga yeekukumye mu kazigo ne banne abalala be yabadde nabo.

Abatuuze be baatemezza ku poliisi y'e Katwe nga bwe waliwo omuvubuka eyalabikira mu katambi nga batta owa bodaboda Derick Mulindwa ng'ali ne munne amanyiddwa nga Young Mulo.

Ensonda okuva ku poliisi y'e Katwe zaategeezezza nti okuva mu June baakafuna emirambo gy'abavuzi ba bodaboda be bakubye enyondo 12, ng'eyasembyeyo yabadde talina bimwogerako. Omulambo gwe baagusanze mabega w'essomero lya Kibuye Primary School e Makindye ng'omusango guli ku fayiro nnamba SD: 59/03/07/2019.

Mugisha yakwatiddwa ne banne okuli; Bob Mubale, Majidu Bandeho nga bakuumirwa ku poliisi y'e Nateete oluvannyuma lw'okubaawula ku Mugisha. Oluvannyuma lw'abaserikale okutwala Mugisha mu kifo we battira aba bodaboda, poliisi yakoze ekikwekweto n'eyoola bamakanika okumpi n'ekizimbe kya Muganzirwazza abawera 12.

Obudde bw'emisana Mugisha abadde yeefuula alonda ebyuma bya sikulaapu mu bitundu by'e Kitebi, Mutundwe, Wankulukuku naye ng'obudde bwe buziba ng'akwatagana ne banne nga batandika okubba. Poliisi eyogedde Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyango yagambye nti ku poliisi e Katwe Mugisha ne banne balinayo fayiro z'emisango 4 nga gyonna gyekuusa kukukuba abavuzi ba bodaboda ne babatwalako pikipiki zaabwe.Poliisi ya Old Kampala erina fayiro emu ng'eno ye y'okutta Derrick Mulindwa.

Yagambye nti buli muntu gwe bakuba poliisi yaggulawo fayiro ey'enjawulo nga bwe banaamaliriza okugenda mu bifo eby'enjawulo Mugisha waakutwalibwa ku poliisi ya Old Kampala nayo ekole okunoonyereza era emutwale e Kakeeka we battira Mulindwa.

Yategeezezza nti era balinze abaserikale okuva ku poliisi y'e Mityana nabo bakole okunoonyereza ku pikipiki ezabbibwa mu kitundu kino oluvannyuma Mugisha atwalibwe ew'omusawo amwekebejje okuzuula oba ali mu mbeera ennungi mu bwongo nga tebannamuvunaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...