TOP

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Added 20th July 2019

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

 Bugingo ne mukyala we Teddy Naluswa

Bugingo ne mukyala we Teddy Naluswa

TEDDY Naluswa mukyala wa Paasita Bugingo, afulumizza ekiwandiiko ku mbeera eriwo wakati we ne bba. Okuva wiiki ewedde Aloysius Bugingo lwe yasinziira mu kusaba ku kkanisa ye eya House of Prayer Ministries e Makerere Kavule n'alangira mukazi we nti yamala emyaka 10 n'ekikulukuto, Teddy abadde talina kye yali ayogedde.

Ebigambo Bugingo bye yayogera kw'olwo byasiikuula emmeeme z'abantu bangi naddala abakyala era abamu ne beekalakaasa ku Mmande ne bagula ppamba ne "Paadi" nga baagala okuziddiza Bugingo kuba mu kwogera yagamba nti yamala emyaka 10 ng'agula ppamba ne ppaadi Teddy ze yakozesanga.

Ekyasinga okunyiiza abakazi y'engeri Bugingo gye yavvoola omukazi n'atuuka n'okukozesa olulimi olwesittaza ng'agamba nti bufumbo nnabaki nga mubala emyaka 29 naye ng'emirundi omwami gy'abadde n'omukyala tegiwera wadde 100!

Mu kiwandiiko Teddy kye yafulumizza eggulo yasoose kwebaza abantu abamubeereddewo mu mbeera enzibu gy'ayitamu n'agamba nti abasinga obungi tabamanyi naye akimanyi nti mu kumulwanirirako bakikola kubanga ebimu ku bimutuuseeko tebikoma ku ye ng'omuntu wabula bizingiramu n'abakyala abalala bangi abayita mu kusoomoozebwa, okutyoboolwa n'eddembe lyabwe okulinnyirirwa.

Yeebazizza nnyo ebibiina by'abakyala ebiyimiridde naye, ne yeebaza ne Palamenti olw'okuwa ensonga eno obudde ne bagiraga nti ya mugaso kubanga ekwata ku bufumbo n'amaka kubanga gwe musingi eggwanga kwe liyimiridde.

ALAZE ESSUUBI AMAKA OKUTEREERA

Mu kiwandiiko kino, Teddy yagambye nti yayingira obufumbo nga bamutegese bulungi nti tegubeera museetwe gwokka wabula mubeeramu obusozi, obuwonvu n'obukko era ekiseera ky'ayitamu kati akiraba ng'akasozi era alina essuubi nti ajja kukavvuunuka amaka gaddemu okutereera.

Yeebazizza abantu abamusabira ennyo okulaba ng'amaka ge gaddamu okutereera baddemu okubeera awamu n'omwami n'abaana bonna nga batambulira mu kisinde kimu eky'amaka agaggumidde era amanywevu agatambulira ku mpagi z'obufumbo obutukuvu. Yagambye nti naye tatudde wabula buli lunaku asabira amaka ge okutereera, omuyaga gwe bayitamu gukkakkane era kino ky'agenda okusaba okutuusa nga Katonda ayanukudde essaala ye.

Yajulizza ebyawandiikibwa mu Zabbuli 36: 7-8 awagamba nti: Ekisa kyo ayi Katonda nga kya muwendo mungi! Abaana b'abantu baddukira wansi w'ekisiikirize ky'ebiwawaatiro byo.

Banakkusibwanga ddala olw'obugevvu bw'ennyumba yo era onaabanywesanga ku mugga ogw'essanyu lyo, kubanga wooli we wali oluzzi olw'obulamu.

Ekiwandiiko yakiyisizza mu bannamateeka be, aba Galisonga and Company Advocates ne Kaggwa and Kaggwa & Company Advocates yategeezezza nti, okuva lwe yatandika okufuna obuzibu ne bba, afunye obuwagizi bungi okuva mu bantu bangi b'amanyi ne b'atamanyi nga bamulwanirira n'ekigendererwa ky'okukuuma ekitiibwa y'amaka.

Awunzise asaba abantu, ensonga ye baleme kugitabulamu byabufuzi byonna kubanga ya bufumbo n'ebyomwoyo Teddy ne Bujingo baatandika okufuna ebizibu mu maka, emyaka esatu emabega era Teddy n'alumiriza omuwala Susan Makula Nantaba akola ku Salt TV ne ku Salt FM ebya Bugingo) nti ye yapaaza omusajja we.

Oluvannyuma Bugingo yagenda mu maka ge e Kitende n'atikka engoye ze n'engatto n'ava mu maka era okuva olwo taddangayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...