TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi we lwa ssente 40,000/-

Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi we lwa ssente 40,000/-

Added 21st July 2019

Ssaalongo avunaaniddwa kutta mukazi we lwa ssente 40,000/-

SSEMAKA akwatiddwa olw'ebigambibwa nti, atuze mukazi we n'amutta lwa ssente 40,000/-. Ssaalongo Akireo Malege 59, omusuubuzi mu kabuga k'e Kikunyu e Kammengo akwatiddwa poliisi y'e Mpigi lwa kukkakkana ku mukazi we Gorret Mbabazi 40, n'amutuga n'amutta lwa kumubanja ssente ze 40,000/-.

Abafumbo bano baasoose kufuna butakkaanya oluvannyuma lwa Mbabazi okunoonya ssente ze emitwalo ena ne zimubula kyokka bwe yazisabye bba Ssaalongo Malege n'amulangira obwenzi era n'agaana okuzimuddiza ekibaviiriddeko okulwana okumala ekiseera.

Kigambibwa nti ng'okulwanagana kuwedde, Ssaalongo Malege yeefudde egenze owa mukyala muto wabula n'akomawo n'asooberera Mbabazi n'amugwa mu bulago n'amutuga.

Nga Ssaalonga amaze okutta mukazi we, omulambo yaguggalidde mu nnyumba n'agenda ewa mukazi we omulala gye yasuze era olwakomewo ku makya n'atandika okubikira abantu nti, mukazi we Mbabazi afudde.

Abatuuze batemezza ku poliisi y'e Mpigi egenze okwekebejja omulambo ne bagusangako enkwagu mu bulago n'ebisago ebirala ku mubiri ekibawalirizza okugutwala mu ddwaaliro e Mulago ne kizuulibwa nti yatugiddwa era Ssaalongo Malege n'akwatibwa n'aggalirwa mu kaduukulu ka poliisi e Mpigi.

Abooluganda lwa Mbabazi baategeezezza poliisi nti, omuntu waabwe tabadde mulwadde. Akulira poliisi y'e Mpigi, Elias Twesigye ategeezezza nti, Malege aguddwaako omusango gw'obutemu ku fayiro nnamba CRB; 131/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....