TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi mu katale k'e Kitintale bali ku bunkenke

Abasuubuzi mu katale k'e Kitintale bali ku bunkenke

Added 21st July 2019

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke

 Loodi meeya Lukwago ng’ayitaayita mu basuubuzi.

Loodi meeya Lukwago ng’ayitaayita mu basuubuzi.

ABASUBUUZI abasoba mu 800 abakolera mu katale k'e Kitintale mu munisipaali y'e Nakawa bali ku bunkenke oluvannyuma lwa nannyini ttaka okuli akatale kano okubalagira okwamuka ekifo kye.

Mu lukiiko olutudde mu kifo kino nga lwetabyemu abakulembeze ab'enjawulo nga bakulembeddwaamu Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, Ronald Kiggundu ssentebe w'abasuubuzi agambye nti, akatale kano kali ku ttaka lya David Wasswa Ssenteza era yabawadde ebbaluwa ebalagira okuva ku ttaka lye.

Kiggundu yategeezezza nti, bwe baafuna ebbaluwa eno baagenda ewa minisita wa Kampala, Betty Kamya n'akubira Ssenteza n'abawa omwaka gumu gwokka nga bavudde mu kifo kino. Moses Okwera kansala wa Nakawa 1 agambye nti, ssente z'okuzimba akatale akapya baaziyisa naye tewali nkola nnambulukufu n'ekitongole kya KCCA.

Loodi meeya Lukwago yategeezezza nti, agenda kuyita omugagga Ssenteza ku City Hall baogere ku nsonga z'akatale kano. Lukwago yayongeddeko nti singa Ssenteza agaana okuteesa baakweyambisa amateeka okutaasa abasuubuzi abakoledde mu katale kano okumalira emyaka 50.

Lukwago yagambye nti tayinza kukkiriza basuubuzi bano kumala gasengulwa n'agamba nti bazze bagulumba n'ensonga z'akatale k'e Kitintale era nga waliwo ettaka lye baabagulira kyokka abakugu ba KCCA bakyalemeddwa okuzimbako akatale.

Omubaka wa Nakawa Micheal Kabaziguruka teyamatidde olw'omwaka ogumu omugagga gwe yawa abasuubuzi bano n'agamba nti buno obudde butono nnyo abasuubuzi okuteekateeka okugenda mu kifo ekirala. Yasabye abakugu mu KCCA okukwatagana n'abakulembeze okulaba nga bazimba akatale akalala.

Omukugu Henry Bukenya okuva mu KCCA yagumizza abasuubuzi bano nti kontulakiti y'okuzimba akatale kano yaggwa naye wakyaliwo obusonga obusigalidde butono ddala. Oluvanyuma baagenze ne balambula ettaka KCCA lye yagulira abasuubuzi okuzimbako akatale akapya nga baazimbako ne kaabuyonjo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...