TOP

Wali muyigiriza ow'ekisa

Added 21st July 2019

Wali muyigiriza ow'ekisa

OMUGENZI musomesa Monica Baliddawa wadde ng'emyaka kati gigenda kuwera ena bukya otuva ku maaso, ebirungi bye walekawo bikufuulira ddala omukyala eyali endabirwamu era ow'omugaso ate ow'amaanyi naddala mu masomero ge wali okulembera.

Wali mukulu eyali amanyi embeera y'ensawo z'abazadde. Wali owuliriza abazadde mu biseera nga tebannakusasula bisale by'abaana baabwe ekintu ekyakufuula omuzadde eri abaana b'otozaala. Wali owuliriza ensonga z'abazadde buli lwe wagobanga abayizi olw'ebisale by'esomero ng'era y'ensonga lwaki abataka b'e Buwagi mu Sazza ly'e Kagoma mu disitulikiti y'e Jinja bakusuubwa nga bangi n'okutuuka leero bakyakaabira enkolagana yo nabo.

Olunaku lwe baakukyusa okujja ku Buwagi P/S abazadde baalabwako nga beekandagga nga bino byonna bikwoleka omugaso gwe walina gyebali nga n'abalala batuuka n'okukyusa abaana baabwe.

Wali omuntu akola omulimu gwe n'okwagala kwonna nga n'okwagala enkulaakulana mu kitundi kyo ku lw'essomero wabeera nga wa nkizo. Wayagalizanga buli omu okubeera mu mbeera eyeeyagaza.

Buli kiseera, tunaakujjukiranga obulamu bwaffe olw'ebyo bye watusomesa n'okutuyigiriza naddala okubeera abakozi era ab'obuvunaanyizibwa mu bulamu bwaffe. Wadde nga wali okolera mu kyalo naye wakubirizanga bakyala banno okwekuumira ku mutindo nga banyirira era nga bayonjo okuvvuunuka enddwadde ez'enjawulo. Wadde watulekawo naffe tukusuubiza nti, leero tukola ebyo byennyini ebikuweesa ekitiibwa n'okukujjukirwako ng'omukyala eyasooka okukulembera essomero lya Gavumenti mu Ssaza Kagoma mu disitulikiti y'e Jinja.

Ku myaka 43 gye wafi irako, wali kyakulabirako gye tuli era eyeegombesa abakyala ku kyalo olw'okubeera omukozi.

Kino tekisobola kutuva ku maaso wadde mu bwongo bwaffe kuba naffe watutendeka okubeera abakozi, kye tutambulirako ng'era kye tugenda okutambulirako. Twebaza Katonda olw'obulamu bwo ne byonna bye twakufunako okuli essanyu, okutuyigiriza, okutusikiriza, okutwanjulanga mu mikwano gyo naddala mu bakozi bano nga wano naffe we twafunira emikwano emirala.

Wali kiddukiro ky'abazadde era obaddewo okuyamba abalala ng'oyita mu bintu eby'enjawulo. Bulijjo tukuteeka mu ssaala zaffe era olizibeeramu obulamu bwaffe bwonna nga tukusabira obulamu obutaggwaawo eyo gy'oli Mukama akukwatirwe ekisa. Wummula mirembe munnange bwe twasoma. Ku lwa famire y'omugenzi, nze Rebbecca Munafu, mukwano gwa famire omusawo ku ddwaaliro ekkulu e Iganga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...