TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

Added 21st July 2019

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

PULEZIDENTI Museveni agambye nti okwebaka ennyo otulo, abantu obutasosowaza bintu bibayamba mu kulakulana  n'okumala gamansa ssente bye bimu ku biremesezza Bannayuganda okulakulana.

Museveni era agumizza Bannayuganda nti gavumenti egenda kubayamba okumalawo ebizibu by'okugobanyizibwa  ku ttaka  n'tegeeza nti bannyini mataka  bye bakola bimenya mateeka.

Bino Pulezidenti yabyogedde asisinkanye abakulembeze ba disitulikiti y'e Mubende n'endala eziriraanyeewo  ku mukolo ogwabadde ku  ttendekero lya St. Peters Techinical School mu ggombolola y'e Kyatelekera mu kibuga Mubende.Abakulembeze abasisinkaniddwa baavudde mu disitulikiti okuli ; Kiboga, Kyankwanzi, Kassanda ne  Mityana.

Ng'ayogera ku buggagga n'okutondawo emirimu, Museveni yagambye nti ekitawanya Bannayuganda mulimu okwebaka buli kaseera,,obutasosowaza bintu bibazimba n'okumansa ssente ku bintu ebitaliimu ng'obubaga.

Museveni yagambye nti NRM etuukiriza ebitundu 62 buli kikumi eza manifesito yayo.N'agamba nti obuzibu obukyaliwo be Bannayuganda okwesiba mu kulima emmere ey'okulya ng'ate  ensi mu mbeera eyetaaga ssente.Yakubirizza abantu okulonda ebintu ebisobola okuleeta ensimbi n'agamba nti abalina ettaka ettono basobola okulemera okulunda enkoko,embizzi,n'okulima ebibala.

Yakubirizza abantu okwewala okwonoona entobazzi n'okugabana ettaka n'ebibanja by'abafu. Yagambye nti bannyini mataka abasinga badduka mu biseera by'olutalo nga bakomawo luwede, N'agamba nti gavumenti yabakalatira obutagoba babibanja n'okutasaba busuulu ayitiridde kyokka byabayita ku mitwe..

Yagambye nti gavumenti eri mu kukola ngudo za mu kitundu okuli Kakumiro - Kagadi N'agamba nti n'endala nga  Masindi- Kigumba ne  Kakumiro - Buhimba nazo zakubwa kkolaasi.

Abakulembeze ba NRM abaakulembeddwa ssentebe w'ekibiina e Mubende  basabye Pulezidenti Museveni aleme kwesimbibwako mu 2021

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.