TOP

Mugisha bamuzzizzaayo gye battira Mulindwa

Added 22nd July 2019

Kakeeka-Mengo we battira owa bodaboda Derrick Mulindwa nga June 30, baali baakamala okuttirawo owa bodaboda omulala.

 Mbega wa poliisi ng’ali ne Mugisha.

Mbega wa poliisi ng’ali ne Mugisha.

John Bosco Mugisha Mukiga, eggulo poliisi yamuzizzaayo mu kifo kino n'abalaga bwe batta abantu bombi.

Yabatta ali ne Young Mulo (Aloysius Tamale) ne munnaabwe Kagame. "Oyo (Mulindwa) si y'asoose. Wano twattirawo omulala mu March omwaka guno.

Mu March waaliwo ebitooke we twamuttira. We twattidde Mulindwa ng'ebitooke tebikyaliwo.

Eyasooka twamukuba ejjinja ku mutwe n'afiirawo", bwe yategeezezza abaserikale abaavudde e Kampalamukadde. Poliisi yakutte ku vidiyo byonna bye yabalaze.

"Gwe twasooka okutta yajja avuga Mulo ku pikipiki. Nze ne Kagame twali tubalinze awo mu bitooke. Bwe baatuukawo Mulo n'agamba owa bodaboda ayimirire.

Mulo yamukwata akabadiya olwo nze ne Kagame ne tufubutuka mu bitooke ne tumuyamba okutta. Nze nnamukuba ejjinja ku mutwe.

Kagame yavuga pikipiki, olwo nze ne Mulo ne tutuula emabega", bwe yannyonnyodde.

Okutta Mulindwa, yagambye nti baava ku bbaala e Makindye ne bagenda e Kakeeka ku ssaawa nga 3:00 ez'ekiro.

Baalina ekirowoozo ky'okuttira owa bodaboda gye baali bagenda okubba mu kifo kyennyini we battira eyasooka. Kyokka baasanga ebitooke tebiriiwo nga bazimbawo enju.

Twafuna ekifo emabegako katono awo Mulo we yakweka ennyondo ne bagenda okunoonya pikipiki. "Pikipiki twagiggya ku Duster Street okumpi ne Radio One n'etutwala e Kakeeka we twamuttira", bwe yagambye. Yalaze engeri gye baamutammu naddala engeri gye yakuba ennyondo.

Pikipiki baasooka kugitwala ku mayiro mwenda ku lw'e Gayaza ne tugissa mu paakingi. Amannya twawandiisaayo Kayihura mu kitabo. Mugisha yalina ssente n'asasula ssente mwe baasula ekiro ekyo.

Nga bukedde, Mugisha yawa Mulo 15,000/- agende asisinkane omugagga eyabasasulako 200,000/- ku kakadde kamu ke baagimuguza kyokka 800,000/- tazibawanga. Kino kitegeeza nti Mulindwa baamuttira 200,000/- zokka.

Yabatutte we yasuula ennyondo n'abatwala n'e Kabuusu-Lubaga we yasuula essimu gye babba ku Mulindwa.

Pikipiki eyasooka gye babba ku wa bodaboda gwe battira naye e Kakeeka baagitunda 600,000/-.

Omugagga yabalagira kugimusanza wa Zzana. Mu kugabana ssente Mugisha yafuna 150,000/- ne Kagame 150,000/- ate Mulo yafuna 300,000/- kubanga y'akolagana n'omugagga ate y'aleeta n'emirimu.

Yagambye nti, bwe baatuuka awaali omugagga, Young Mulo yabaleka busukkakkubo n'agenda n'amusisinkana n'amuwa pikipiki n'addayo gye bali ne 600,000/-. Agamba omugagga yali ayambadde ekikoofiira ky'abavuzi ba bodaboda ku mutwe teyasobola ku mwetegereza.

Yagambye nti okuva February 2019, ye ne Mulo baakabba pikipiki mukaaga. Kyokka nga bukya atandika kukola mulimu ogwo baakatta aba bodaboda 17. Teyejjusa kutta ba bodaboda kubanga "nabo bwe batukwatako batuttirawo awatali kutusaasira.

Pikikipi nkwatako nnamba ssatu ezisooka eziraga obupya bwa pikipiki. Eya Mulindwa nnakwatako UER eyo gye tubuulira omugagga okumanya nti ekyali mpya".

ENGERI GYE YAKUBA ENNYONDO;

Yalaze poliisi engeri Young Mulo gye yakwata Mulindwa akabadiya n'amukuba ku ttaka.

Yagambye nti, olwamala okumukuba ku ttaka, ye Mugisha yadduka mangu n'aggyawo pikipiki n'adduka n'akima ennyondo we baali bagikwese.

Yamenye ekiti kya muwogo n'asaba bamuteerewo omutwe gw'omuntu abalage bwe yatta Mulindwa abaserikale ne bagaana.

Yabalaze ekitaffaali n'abagamba bakimuleetere ky'aba akozesa n'akisitula n'abagamba nti "omutwe gwa fala gwali wano ne nkima ennyondo ne muggyamu ekikoofiira ne nkikasuka eri ne mmuwa.

Yalina essimu ne ngimuggyako. Mulo n'asamba pikipiki ne tugenda". Bwe yamaze okubalaga bwe baamukuba, yabatutte we yasuula ennyondo ku kkubo eriva e Mengo okwambuka e Kabuusu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...