TOP

Pulezidenti alabudde ab'e Mubende bave mu tulo

Added 22nd July 2019

PULEZIDENTI Museveni agambye nti okwebaka ennyo otulo, abantu obutasoosowaza bintu bibayamba kugenda mu maaso n’okumala gamansa ssente bye bimu ku biremesezza Bannayuganda okukulaakulana.

Museveni era agumizza Bannayuganda nti Gavumenti egenda kubayamba okumalawo ebizibu by'okugobanyizibwa ku ttaka n'ategeeza nti bannannyini ttaka bye bakola bimenya mateeka.

Bino Pulezidenti yabyogedde asisinkanye abakulembeze ba disitulikiti y'e Mubende n'endala eziriraanyeewo ku mukolo ogwabadde ku ttendekero lya St. Peters Techinical School mu ggombolola y'e Kyatelekera mu kibuga Mubende.

Abakulembeze be yasisinkanye baavudde mu disitulikiti okuli ; Kiboga, Kyankwanzi, Kassanda ne Mityana.

Ng'ayogera ku buggagga n'okutondawo emirimu, Museveni yagambye nti ebitawaanya Bannayuganda mulimu okwebaka buli kaseera, obutasoosowaza bintu bibazimba n'okumansa ssente ku bintu ebitaliimu ng'obubaga.

Museveni yagambye nti NRM etuukirizza ebitundu 62 ku buli kikumi mu manifesito yaayo n'agamba nti obuzibu obukyaliwo be Bannayuganda okwesiba mu kulima emmere ey'okulya mu kifo ky'okunyweza evaamu ssente.

Yakubirizza abantu okulonda ebintu ebisobola okuleeta ensimbi n'agamba nti abalina ettaka ettono basobola okulemera ku kulunda enkoko, embizzi n'okulima ebibala. Yakubirizza abantu okwewala okwonoona entobazzi n'okugabana ettaka n'ebibanja by'abafu.

Yagambye nti gavumenti eri mu kukola nguudo za mu kitundu okuli Kakumiro - Kagadi n'ayongerako nti n'endala nga Masindi- Kigumba ne Kakumiro - Buhimba nazo zaakubwa kkolaasi.

Abakulembeze ba NRM abaakulembeddwa ssentebe w'ekibiina e Mubende baasabye Pulezidenti Museveni aleme kuvuganyizibwa ku tikiti ya NRM mu 2021.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...