TOP

Engeri abagagga gye bakolagana n'ababbi

Added 24th July 2019

ABAGAGGA be balumiriza okwenyigira mu bubbi bwa bodaboda, bakozesa emmotoka ezibeera zirawuna ebitundu abavubuka be bakolagana nabo mwe babeera bagenda okubbira.

Ebizuuliddwa oluvannyuma lw'okukwatibwa kwa Mulo ne Mugisha byasonze ku bagagga abeenyigira mu bubbi bwa bodaboda n'engeri gye bakolagana n'ebibinja by'abatta aba bodaboda ne babulawo ne pikipiki ne baziguza abagagga ku ssente entono ennyo.

Abagagga be banoonyerezaako kuliko; ow'e Katwe okumpi ne Muganzirwazza mu Wansanso Zooni, ow'e Nyanama n'omulala abeera e Mutundwe.

Mulo bwe baamukutte yagambye nti ku pikipiki ya Derrick Mulindwa gwe batta nga kkamera zibakwata, omugagga yabawa emitwalo 20 gyokka, olwo n'abasuubiza okubawa emitwalo 60 ezaali zisigaddeyo wabula baatuuse kubakwata nga tannazibawa!

EMMOTOKA ABAGAGGA ZE BAKOZESA

Okunoonyereza okugenda mu maaso kwalaze bambega nti emmotoka basinga kukozesa kika kya Noah nti era zino zibeeramu abakozi b'abagagga (bakanyama) era ogwabwe gubeera gwa kutaasa mbeera singa ababbi ba pikipiki babeera bazingiziddwa.

Mu mmotoka zino era olumu batambulizaamu ne pikipiki enzibe naddala mu mbeera ng'ebibinja bya bodaboda biwondedde ababbi. Mu mbeera bw'etyo, emmotoka ebeera erinze era ababbi olugituukako nga baggula bbuutu nga basonsekayo bodaboda, ng'olwo beesogga emmotoka nga babulawo.

Aba bodaboda ababeera babawondera ne bwe batuuka ku mmotoka eyo bayitako mpite ne beeyongerayo, kubanga bbo babeera bagoba babbi abali ku pikipiki ssi mmotoka!

Ng'oggyeeko eky'emmotoka ezo okuyambako mu kutambuza pikipiki enzibe, wabula olumu zivaamu abasajja abakanyama abatera okwefuula nti bakolagana n'abebyokwerinda, olwo ne bataasa ababbi ababeera bakwatiddwa era banguwa mangu okukwatagana ne poliisi n'etwala omusibe oyo kubanga baba bakimanyi nti bajja kukolagana ne mukama waabwe (omugagga) baggyeyo omubbi mu kkomera addemu abakolere ‘misoni' z'okubba pikipiki.

Aba bodaboda naddala e Katwe baludde nga beemulugunya nti abagagga abo balina boofiisa ba poliisi be bakolagana nabo nti era balinga abaateeka boofiisa abo ku musaala ogwa buli mwezi nga gusingira wala ogwo gavumenti gw'esasula aba poliisi abo. Kino kiyamba abantu baabwe okuyimbulwa amangu ddala nga baakakwatibwa.

Ababbi nabo babawa ssente ezibabeezaawo, olwo ne babalagana nga bamaze okubba pikipiki. Abakulembeze ba zooni ezimu mwe bateeka amaduuka mwe batundira sipeeya wa pikipiki enzibe nabo babawa ku ssente, okubasirisa baleme kusiikuula nfuufu.

Abagagga bafuba obutakolagana butereevu na babbi era abavubuka abakola ng'abayambi g'abagagga be balinga abayunga ababbi ku bagagga era n'ensimbi eziweebwa ababbi, abayambi abo be bazituusaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'ewa Kisekka bazzeemu oku...

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose ewa Kisekka nga poliisi egumbulula abasuubuzi ababadde bakedde okwegugunga nga...

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...