TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro atongozza sizoni y'okulima emmwaanyi ey'okubiri e Kabula

Katikkiro atongozza sizoni y'okulima emmwaanyi ey'okubiri e Kabula

Added 24th July 2019

Katikkiro atongozza sizoni y'okulima emmwaanyi ey'okubiri e Kabula

 Katikkiro ng'atongoza sizoni y'emmwaanyi ey'okubiri mu mwaka guno

Katikkiro ng'atongoza sizoni y'emmwaanyi ey'okubiri mu mwaka guno

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti enkola y'EMMWANYI TERIMBA y'emu kweezo ezigenda okuyamba eggwanga okutuukiriza kaweefube waalyo ow'okutunda ensawo obukadde 20 omwaka 2020 wegunatuukira  kyokka nga kati etundu ensawo obukadde butaano era n'asaba abalimi okukola omulimu guno mu mutindo n'obukugu.

Bino yabyogeredde ku mbuga y'eggombolola Ssabawaali Kaliiro mu ssaza ly'e Kabula bweyabadde akomekkereza okukyalira abalimi mu kitundu kino n'agamba nti ebbago ku mmwaanyi eriri mu bubage lirina ebirungi n'ebirumira wabula nga kyangu okuliggyamu ebirumira,emitima gy'abalimi negikakkana!

"Abalimi basange abalimi gyebasangibwa,bababulire obungi bw'emmwanyi bwebalina era bano bakuyamba gavumenti okufuna ebibalo byeyetaaga mu bulimi buno awatali kukalubiriza balimi. Eky'okusiba abantu nti bagayaliridde ennimiro z'emmwanyi nakyo kyetaaga okukyusibwa ng'abalimi bagambibwa okuzisanyaawo singa babeera tebakyayagala kutwala bulimi bwa mmwanyi mu maaso," Katikkiro bweyayogedde ku bbago ly'emmwanyi eriri mu bubage.

Mayiga yagambye nti ebbago lino likyaali mu bubage n'olwekyo nga libeera likyakubaganyizibwako ebirowoozo era naye kyeyavudde awa ebibye mu lujjudde ate mu bbanga ttono mu maaso, Obwakabaka bwakuwa ebirowoozo byaabyo ku bbago lino.

Minisita avunanyizibwa ku ttaka,obulimi,obutonde bwensi ne Bulungibwansi,Hajjat Mariam Mayanja yebazizza Katikkiro olw'amaanyi gatadde mu nkola y'EMMWANYI TERIMBA efuuse ensonga era ekutte bannayuganda omubabiro.

Ye Hajj Amisi Kakomo nga ye minisita omubeezi ow'obulimi yakoowodde abalimi bonna mu Bugaanda abeetegese okuwwereeeza okusaba kwaabwe eri ekitongole ky'obulimi e Mmengo,okusobola okufuna endokwa.

Okutuuka mu balimi bano, Katikkiro yakulembeddwamu omwami w'essaza lino, Lumaama Francis Mugumya Ntambaazi ng'ono yasabye Obwakabaka okuddukirira abantu b'ekitundu kino mu bujjanjabi bw'endwadde okuli mukenenya n'ekibumba saako ensonga y'amazzi ebasobozese okuyitimula obulimi n'obulunzi.

Okulambula kuno yakutandikidde wa mulimi Yusufu Kasimba ku kyalo Kammengo mu ggombolola ya Ssabaddu Lyantonde ng'ono alima emmwanyi ng'era erina n'olusuku. Yazzeeko ewa Johnson Musibe ku kyalo Nsese nga wano mutabani wa Musibe ayitibwa Herbert Lwensheshe yeyayogedde ku lwa famire neyebaza Obwakabaka olw'okutumbula obulimi bw'emmwanyi era naasaba gavumenti ya wakati wamu n'Obwakabaka bakwatagane olw'okutwala obulimi bw'emmwanyi mu maaso nga bwebayombagana, abantu bebafiirwa.

Katikkiro yasinzidde ku kyalo Kitazigolokwa n'atongoza sizoni ey'okubiri ey'okusimba emmwanyi mu Buganda omwaka guno naagamba nti obulimi kati bwetaaga obukugu okusobola okubufuna bwatyo n'akubiriza abalimi okufubanga okufuna amagezi agava mu bakugu n'abamaze ebbanga mu mulimu guno.

"Abavubuka bwobeera mu kyalo olina okukola ebintu bibiri;- okulunda oba okulima. Bino bwebikulema,ojja kubeera mu bwavu ebbanga lyonna.Enteekateeka y'emmwanyi Terimba egenderera okuwa abavubuka essuubi benyigire mu bulimi n'okuvaamu endowooza egamba nti bodaboda n'okusiba obupapula,bisinga obulimi," Mayiga bweyayogedde bweyabadde ku kyalo Nakaseeta ew'omulimi Ronald Ssenkumba.

Katikkiro e Kabatema ewa David Muyomba ng'ono mumyuka w'omwami atwala eggombolola y'e Kaliiro yayongedde n'alaga obwenyamivu olwa Bannakabula okubeera n'obusa kyokka nebatabukozesa mu nnimiro zaabwe era yakyaddeko ne ku kiggo kya St. Adrian Kaliiro Parish neyebaza Fr. Bernard Kasagga olw'okukola enteekateeka z'okuyimirizaawo ekiggo nga benyigira mu bulimi bw'emmwanyi n'ensuku naagamba nti bannaddiini bwebegatta ku mirimu egikolebwa, kiraga nti bagirabamu omulamwa.

Katikkiro yayingira mu ssaza lino ery'e Kabula ku Mmande ekkiro nga yasookera ku faamu y'Omubaka wa Palamenti akikkirira ekitundu kino, James Kakooza ng'ono yamutonedde ente bbiri bwatyo Mayiga n'akubiriza Abaganda mu kitundu kino okunyikirira okulunda ate n'abamawanga amalala okwenyigira mu bulimi bw'emmwanyi n'ebitooke okutumbula enkulakulana.

Amaggombolola amalala agasangibwa mu Kabula kuliko Mumyuka Kasagama, Musaale Mpumudde ne Ssabagabo Kinuuka nga gano, Katikkiro ne Baminista beyatambudde nabo tebagatuusemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...