TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukungu wa IRA atangaazizza ku insurance y'obulamu

Omukungu wa IRA atangaazizza ku insurance y'obulamu

Added 24th July 2019

Omukungu wa IRA atangaazizza ku insurance y'obulamu

Abdu Kaddunabbi Lubega wakati n'abakungu abalala nga batongoza enkola ya Medi life insurance

Abdu Kaddunabbi Lubega wakati n'abakungu abalala nga batongoza enkola ya Medi life insurance

AKULIRA ekitongole ekirung'amya kkampuni za yinsuwa mu ggwanga ((Insurance Regulatory Authority) Ibrahim Kaddunabbi Lubega agambye nti kino kye kiseera abantu webandibadde babeera ne yinsuwa y'obujjanjabi ne basobola okufuna obujjanjabi obw'omutindo ku sente ensaamusaamu.

Agambye nti akimanyi bangi bagenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi kyokka ne bafunikira nga babawandiikidde  eddagala lye balina okugula okusobola okuwona endwadde ezibaluma.

"Omuntu bw'ofuna yinsuwa y'obulamu kimuyamba okufissa sente n'azikolamu ebirala n'okuwummula ebirowoozo kubanga bw'olwala nga tolina sente bingi ebikuluma" Kaddunabbi bwe yaggumizza.

Asinzidde mu lukung'aana lw'abamawulire ku Nyonyi Gardens e Kololo nga Orient bank erangirira entegeka yaayo mw'ekwataganidde ne Prudential Insurance wamu ne IAA okutandika okuwa abantu yinzuwa y'obulamu nga sente basisala butereevu okuva ku akawunti zabwe buli mwezi.

Akulira bbanka eno Julius Kakembo yategeezezza nti bakoze okunoonyereza okumala ne bakizuula nga waliwo abantu bangi abetaaga obujjanjabi obw'omutindo ku sente ensaamusaamu ng'ekibulawo kwekuteekawo ekkubo erikibatusaako.

Ku mukolo guno Kaddunabbi bwe yatandise okwogera n'ategeeza abaabaddewo nti yayise n'abantu babiri bw'atyo n'ayanjula Omuzaana Marion Nankya Wassajja mukyala w'Omulangira David wassajja ne Cynthia Ayero Nsubuga beyazze nabo.

Nankya y'abadde akutte fayiro ya Kaddunabbi omubadde empapaula era Kaddunabbi olwamaze okwogera n'agimuddiza. Yabadde ayogera nga bw'amukuba ebifaananyi ng'akozesa essimuye ey'omungalo.

Kaddunabbi yategeezezza nti ebbago ly'etteeka eriteekawo yinsuwa y'abantu bonna ku buwaze tebannaba kulisomamu wabula akakasa nti bwe linatuuka mu palamenti bajja kulisomamu kubanga akimanyi nti mulimu bingi eby'etaaga okulongoosa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...