TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'akanaabi okulwanyisa endwadde

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'akanaabi okulwanyisa endwadde

Added 26th July 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'akanaabi okulwanyisa endwadde

 Obucupa omuli butto w’akabaani

Obucupa omuli butto w’akabaani

FRANKINCENSE kabaani ka byafaayo mu nsi yonna kubanga kye kimu ku birabo bye baasooka okuwa Yesu ng'azaaliddwa. Abasajja basatu abagezigezi bwe baagenda okulaba Yesu ng'azaaliddwa baagenda n'ebirabo bisatu nga muno mwe mwali akabaani ka Frankincense, myrr ne zaabu. Akabaani baakazuulamu ekyama kubanga bukya wayiseewo emyaka 2,000 n'okusoba naye tukyamanyi omugaso gwako.

Kaakano tukakomezzaawo mu ngeri ya butto. Abamu bayinza okwebuuza lwaki butto, tukozesa butto kubanga naawe omuntu omulina mu mubiri ky'ova olaba otuuyana n'ofuna olusavusavu ku mubiri gwo ekitegeeza butto ayanguwa okuyingira mu mubiri. Butto ono Abasiraamu bamuyita Al-bakhur kye balowooza nti kakuyunga ku Allah nga weetoowaza, ate Abakristu naddala Abakatoliki banyookeza akabaani kano olw'okuba nga kakkakkanya ebirowoozo n'okutukuza ebirowoozo.

Bwosoma mu Bayibuli mu kitabo Kyokuva 30:34-38, Solomon 4:16, Okubikkulirwa 18:13 ne Matayo 2:11 zonna zoogera ku kabaani kano. Olw'okutukuzibwa okwo, mu nsi yonna akabaani kano kettanirwa era bakasiiga abaana mu kyenyi ne wansi mu bigere nabo basobole okutukuzibwa nga bwe gwali ku Yesu kubanga naye mutukuvu ate akola ebyamagero.

Ensangi zino Abayindi bakakozesa okusiiga abaana ate Abayudaaya bakasiiga mu kyenyi. Butto w'akabaani ayamba okuwonya obwoka ssinga okasiiga omwana mu bigere amatondo abiri (2) mu kigere ate olw'okuba olususu lwe luweweevu kayingira bulungi mu mubiri.

Omukyala eyaakazaala kakuyamba okuzzaawo omubiri ne guba wamu. Nywa amatondo ataano mu mazzi agabuguma ate tekalina bulabe bwonna eri mabeere wadde omwana. Ayamba okugonza olubuto nga bw'olya emmere etambula bulungi. Kayamba okutereeza empulirizo z'omubiri naddala ez'abakyala.

 masanda omuva butto Amasanda omuva butto.

Abayamba okudda amangu mu nsonga, okufuna amabeere nga bazadde, obutalumwa nga bagenda mu nsonga olw'ekirungo kya Boswellic Acid ekiyamba okutereeza empulirizo z'omuntu. Kalungi eri abalina obuzibu bw'omusaayi omukwafu, kagusaabululamu ne gutakola butole olumu obuvaako omuntu okusannyalala.

Omuntu alina olukindo nga ugaanyi okuwona yisaako butto ono ojja kutereera mu bwangu. Kakkakkanya obwongo bw'omuntu n'aba mulamu, kino kiyamba abaana abasoma ne basobola okuteekayo omwoyo. Ate kayamba n'omuntu okwebaka obulungi ssinga okateeka ku mutto gwe weezizise.

Abaana abalina ekizibu ku bwongo kabayamba okutereera okwo gattako okukola ku bizimba eby'obwongo Kalungi ku lususu ssinga okagatta ne butto wa Zaitun oba Olive oil era kabuza n'enkovu. Osobola okukanyumunguza mu kamwa ne katta obuwuka obulwaza amannyo, okuvaamu akawoowo akalungi n'okugoba endwadde. Kamalawo okuzimba kw'omubiri ate nga kakkakkanya obulumi mu mubiri.

Omuntu abeera mu kwennyamira kakozese kubanga kagatta omuntu ku bulamu obwomwoyo n'ofuna essuubi n'obutaloota birooto bya ntiisa. Kayamba okuzuukusa obusimu bw'obwongo omuntu n'aba ng'ajjukira ate kayamba okuziyiza obutaffaali obuvaako kookolo.

Butto ono wa bbeeyi, naye twasazeewo okukakolamu butto ate atali wa buseere noolwekyo alina mukwano gwo ng'agenda kuzaala osaanye okukyusa ebirabo by'omutwalira wabula omutwalire butto ono. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 /

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...