TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaalondeddwa mu People Power balaze kye bazzaako

Abaalondeddwa mu People Power balaze kye bazzaako

Added 26th July 2019

Abaalondeddwa mu People Power balaze kye bazzaako

ABAALONDEDDWA okukuliramu ttiimu egenda okuyiggira Bobi Wine obululu bwa 2021 balaze amakubo ge bataddewo agagenda okubatuusa ku buwanguzi. Medard Lubega Sseggona (Busiro East) eyaweereddwa okukuliramu ebitundu bya Kampala n'emiriraano yagambye nti omulimu omukulu gwe bagenda okutandikirako gwa kukunga bawagizi baabwe babeere bumu n'okuzimba abakulembeze okuva wansi ku byalo.

Kyokka olw'okuba People Power kisinde nga si kibiina kya byabufuzi kijja kubeetaagisa okutuula n'abantu abalala bonna abakkiririza mu nkyukakyuka bakkaanye ku bantu abalina okwesimbawo ku bifo eby'enjawulo.

Moses Bigirwa omu ku bakunzi mu kitundu ky'e Busoga yagambye nti ekikulu ekyabalagiddwa kwe kutegeka abantu nga beenyigira mu nkyukakyuka ezijja. Bagenda kusunsula abantu abagenda okwesimba ku bifo eby'enjawulo okuviira ddala ku byalo okutuukira ddala mu bubaka bwa palamenti.

Okukunga abatuuze okwetegekera enkyukakyuka ezijja. Bagenda kutandika okunoonya abantu abagenda okwesimba ku buli kifo. Buli mukolo ogutegekebwa mu kitundu, balina okukiikirirwa nga tebakkiriza NRM kwetaaya awatali abakuba ku mukono.

Bagenda Lwakutaano July 26, 2019 2 Bukedde AMAWULIRE kusomesa abavubuka okwenyigira mu bukulembeze n'okubayigiriza okukola bizinensi ez'enjawulo basobole okweggya mu bwavu.

Dr. Lulume Bayiga akwataganya ekitundu ky'e Mukono n'emiriraano yategeezezza nti ekikulu bagenda kulung'amya n'okukunga abantu bonna abaagala okuva mu NRM kuba ekisinde kye balimu kye kyokka ekisobola okutuusa eggwanga ku buwanguzi.

Eky'okuba nga bava mu bibiina eby'enjawulo yagambye nti tekijja kunafuya bibiina by'obufuzi, naye bagenda kweyongera amaanyi kuba okwerumaaluma kuweddewo.

Ensonda okuva mu kisinde kya People zaalaze nti okusoomoozebwa kwe boolekedde okusanga kwe kusunsula abantu abagenda okuvuganya ku lwe kisinde mu mbeera nga tebategeka kamyufu.

Okugeza bakyebuuza oba nga Medard Seggona anaawagira Latif Sebaggala ku bwa loodi mmeeya n'alekawo munywanyi we Erias Lukwago bwe bawoleza emisango mu kkampuni emu eya Erias Lukwago and Company Advocates.

EBIBIINA EBIRALA KYE BYOGERA

Gen Mugisha Muntu akulembera ekibiina kya ANT yasuubizza nga bwe bajja okukolagana obulungi n'ekisinde kya People Power n'abalala bonna abakkiririza mu kukozesa amateeka okukyusa obuyinza.

Bwe yabadde ayogera ku kya bammemba b'ekibiina kye ekya ANT abaalondeddwa mu kisinde kya People Power yagambye nti tekisaanidde kweraliikiriza bantu kuba si kizibu era bajja kukigonjoola.

Kyokka Ssaabawandiisi wa DP, Gerald Siranda yalabudde aba People Power okubeera abeegendereza n'okukakasa nti be baalonze tebaatataaganya mirimu gya bibiina. Dr. Kiiza Besigye mu bubaka bwe yafulumizza yayozaayozezza Bobi Wine n'agamba nti abaalondeddwa asuubira nti bagenda kuyambako okulwanirira emirembe, eddembe ly'obuntu n'enfuga ya demokulaasi mu ggwanga.

Bobi Wine bwe yabadde atongoza ttiimu y'okumunoonyeza obululu yakinogaanyizza nti ekisinde kya People Power si kibiina kya byabufuzi. Yalaze nti bali mu mugendo ogugatta abantu bonna nga tebafudde ku maddiini , amawanga wadde ebibiina byobufuzi eby'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....

Omukuumi abuzeeko katono ok...

OMUKADDE aloopye bba gwe bamaze naye mu bufumbi emyaka 27 lwa kumuyita malaaya n'amugoba ne mu nyumba.

Kapiteeni wa Arsenal Aubameyang ne mukama we Arteta

Arsenal lwa kuwangula FA Cu...

ARSENAL yamyumyudde likodi y’okuwangula FA Cup emirundi emingi (14) bwe yavudde emabega okukuba Chelsea (2-1) e...

Aba Digi bafunye webabajjan...

EKIBIINA ekidukanya omuzannyo gwa ddigi mu ggwanga ekya Motorcycling Association of Uganda (MAU) kitongoza ekifo...