TOP

Bakutte 6 mu bubbi bwa bodaboda

Added 26th July 2019

Bakutte 6 mu bubbi bwa bodaboda

 Owa poliisi ng’awerekera abasibe Kaggwa (ku kkono) ne Kaweesi (ku ddyo) ku poliisi.

Owa poliisi ng’awerekera abasibe Kaggwa (ku kkono) ne Kaweesi (ku ddyo) ku poliisi.

ABAVUBUKA mukaaga abagambibwa okuba ababbi ba bodaboda bakwatiddwa e Mukono abasatu ne basindikibwa ku limanda mu kkomera e Kauga. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti be baakutte kuliko; Shakul Magambo, Dan Kaggwa, Ali Kaweesa, Derrick Busiku eyeeyita Aaron Wanda, Stephen Kitimbo ne Isaac Kigozi eyeeyita Henry Lubwama ne baggulwako ogw'okubbisa eryanyi ku ffayiro SD 09/14/7/2019.

Yagambye nti, baazudde bodaboda ezaali zibbiddwa ssatu ze baanunudde nga zino za kika kya Bajaj Boxer nnamba UEO 817F, UEJ 88Q ne UEL 553S. Yategeezezza nti Kaggwa ne Kaweesi be baakukunudde mu Kalagi bakkirizza nga bwe baali babbye pikipiki nnamba UEJ 488Q okuva mu Kitete mu kibuga Mukono.

Aduumira poliisi y'e Mukono, Rogers Sseguya yategeezezza Bukedde nti, Busiku, Kitimbo ne Kigozi baasimbiddwa mu kkooti e Mukono ku Lwokubiri ne bavunaanibwa ogw'okubbisa eryanyi ne baasindikibwa ku limanda mu kkomera e Kauga okutuuka nga August 8.

Amyuka ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono, Stephen Mufuuwa yagambye nti aba boda boda balina okufaayo ku byokwerinda byabwe ate beewale n'okuvuga abasaabaze be bateekakasa mu matumbi budde.

Ono yasiimye omulimu ogwakoleddwa poliisi n'ebitongole byebyokwerinda ebirala. Ono era yasabye abawaabi ba gavumenti n'abalamuzi, ababbi ab'ekika kino baweebwe ebibonerezo ebikakali mu kifo ky'okubata oba okubeeyimirira ate ne bakomawo ne baddamu okutta abantu.

Moses Musaasizi ssentebe wa ba boda boda e Mukono yatulaze ekifaananyi ky'omu ku babbi ba bodaboda gwe banoonya agambibwa okubba pikipiki e Mityana nga mu kadde kano akolera Kampalane mu bitundu by'e Mukono. Musasizi yategeezezza nti okunoonyereza kwe beekozeemu bakisanze nga bo bennyini aba bodaboda be bebbako pikipiki n'okutta bannaabwe.

Ate Abdul Nsubuga kkansala w'abaliko obulemu mu disitulikiti y'e Mukono yasabye poliisi okwongera okwetegereza bamakanika ba pikipiki abayinza okuba nga be batema sipeeya pikipiki ezibbibwa ne bazitunda mu biwagu.

BEBABBYEEKO PIKIPIKI BALAAJANA Godfrey Kiguli 28, baamukuba ennyondo ssatu ku mutwe, yagezaako okwerwanako n'ataasa obulamu pikipiki, ssente n'essimu ye ne baabitwala mu June e Luweero. Agamba nti, abatemu, yabasanga mu kkubo ku ssaawa 11:00 ng'obudde busaasaana ne bamusaba okubatwala e Luweero mu ttawuni.

Yagambye nti, bwe yatuuka mu kkoona eririko akaserengeto, pikipiki yagiggyamu ggiya zonna n'eba ng'etambula mpola wano we baamukubira ennyondo ku mutwe bwe yagwa wansi ne bamulumbawo bamumalirize. "Baakozesa ssimu yange ne bakubira aba famire bakime omulambo." Kiguli bwe yategeezezza. Abayise abaamulaba ng'aboyaanira ku kkubo be bamuyamba ne bamutwala mu Racho Hospital e Kasana mu Luweero gye baamuggya okumutwala e Mulago.

Denis Okwera 23, amaze e Mulago omwezi mulamba. Mutuuze w'e Kamudini mu disitulikiti y'e Ayam. Agamba nti, abaamukuba ennyondo yabaggya ku siteegi nga bamusabye abatwale ku kkanisa emu. Agamba baamubbako pikipik UEV486G kika kya Bajaj Boxer gye yali yaakafuna ku bbanja.

Agamba nti, zaali ssaawa 12:00 ku makya ng'obudde bukedde. Yagasseeko nti, tamanyi ngeri gye yatuuka mu ddwaaliro wabula yagenda okudda engulu ng'ali mu ddwaaliro lya Atapara gye baamuggye okumutwala e Mulago.

Ibrahim Lwanga ow'e Kavule mu Luweero abatemu agamba yabagwamu adda waka ku ssaawa nga bbiri ez'ekiro wiiki bbiri eziyise. Agamba omusajja eyamukuba ennyondo yali ayambadde essaati ya bbulu.

Yamuyimiriza okumutwalako bwe batuuka mu kifo ekiziyivu n'amusaba ayimirire ekyaddirira kumuka nnyondo ku mutwe. Agamba pikipiki ye nnamba UEO 321G teyaddamu kumanya byagituukako n'okudda engulu yeesanga mu ddwaaliro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...