TOP

Nnannyini ttaka bamukutte lwa kutta musenze

Added 26th July 2019

Nnannyini ttaka bamukutte lwa kutta musenze

 Sserwadda nga yaakakwatibwa poliisi.

Sserwadda nga yaakakwatibwa poliisi.

NNANNYINI ttaka avudde mu mbeera n'afumita omusenze ekiso mu kifuba ekimusse ng'amulanga kwezza ttakya lye ng'akozesa olukujjukujju. Musa Sserwadda 42 ow'e Ssennyondo mu bizinga by'e Bunjakko mu ggombolola y'e Buwama mu Mpigi ye yasse Musa Nkulunziza 53 gwe yasenza ku ttaka lye emyaka 15 egiyise kyokka n'ayagala okulyezza.

Sserwadda abadde aludde ng'agugulana ne Nkulunziza ku bwannannyini bw'ekibanja era yamusanze mu luggya n'amusaba bayingire mu nnyumba babeeko bye bateesa. Kyokka olwatuuse mu nnyumba n'amuggyirayo ekisso n'akimusoga mu kifuba n'adduka.

Baliraanwa ba Nkulunziza abaawulidde ng'alaajana be baataayizza Sserwadda ng'agezaako okudduka ne bamukwata kyokka baagenze okutuuka mu nnyumba baasanze Nkulunziza nga agudde wansi avaamu omusaayi mungi era naafiirawo. Abatuuze baatemezza ku poliisi y'e Buwama eyazudde ekiso Sserwadda kye yakozesezza mu ttemu ne bamutwala ku poliisi y'e Mpigi gy'akuumirwa.

Sserwadda kigambibwa nti yakkirizza nga bwe babadde n'obutakkaanya ne Nkulunziza kyokka ne yeegaana eby'okumutta nti tabimanyiiko ng'agamba nti wandibaawo omuntu amulala eyakikoze kubanga abadde atera okubba bakabasajja.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Phillip Mukasa yagambye nti omukwate agguddwaako omusango gw'obutemu ku fayiro nnamba CRB; 188/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu