TOP

Aleppuka na gwa kutta muganzi we

Added 26th July 2019

Aleppuka na gwa kutta muganzi we

 Lubega

Lubega

SSEMAKA agambibwa okusalako mukazi we obulago ng'amulanga okufuna omusajja omulala asimbiddwa mu kkooti enkulu e Luweero ey'Omulamuzi Vincent Tonny Okongo, n'amusindika ku limanda okutuusa nga July 30, omusango gwe lwe guliddamu okuwulirwa.

Edward Lubega (48) avunaanibwa okusalako mukazi we Flavia Namata omutwe n'aguziika mu kibira kya kalittunsi ate ekiwuduwudu n'akivuga okwolekera omugga Mayanja ku luguudo lwa Hoima.

Namata (40) yali Metulooni ku ssomero lya Light High school e Sseguku, Lubega naye gye yali akolera nga yatemulwa June 4, 2016 ekiwuduwudu ne kizuulibwa ku kyalo Ddambwe ku lubalama lw'Omugga Mayanja.

Lubega yategeezezza omulamuzi nti yabadde wa kwewozaako nga talayiddekyokka yagaanyi okutandika okwewozaako ng'agamba nti omusujja gwabadde gumuluma kw'ossa alusa ne puleesa n'asaba kkooti emuweeyo akabanga atereere. Omulamuzi Okongo yawadde olwa July 30 okutandika okwewozaako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...

Omugagga Katumwa

Omugagga Katumwa ayimbuddwa...

OMUGAGGA David Katumwa ayimbuddwa n’ayogera b’agamba nti bebali emabega w’okumusibisa. Katumwa okuyimbulwa baamuggye...