TOP

Aba DP e Luweero balonze ttiimu

Added 26th July 2019

Aba DP e Luweero balonze ttiimu

BANNAKIBIINA kya DP mu disitulikiti y'e Luweero balonze olukiiko lwa bantu 30 okutalaaga amagombolola ag'enjawulo okusaggula obuwagizi basobole okweriisa enkuuli mu kulonda kwa 2021.

Olukiiko lwatongozeddwa Dr. Abed Bwanika nga lukulemberwa eyaliko omubaka omukazi owa Luweero Brenda Nabukenya nga lwa kulaba nga bannakibiina beewala enjawukana n'okukomyawo abaayabulira ekibiina kino beegattire wamu okusobola okusiguukulula NRM mu buyinza.

Dr. Bwanika yagambye nti okuva eggwanga lwe lyefuga DP eyali emaamidde yandibadde yatwala dda obuyinza kyokka entalo mu kibiina zizze zibalemesa ne babakuba bbusu n'okubatwalako abasajja ehhwahhuli nga kati bali mu kwetereeza omuli okukomawo mu kibiina basobole okukukumba ebifo by'obukulembeze mu kulonda okuddako.

Yasabye abavubuka okukozesa omukisa gw'obungi bwabwe beenyigire mu nteeketeeka z'okulonda era basuule obululu bungi basobole okutikkula jjajjaabwe (Museveni) omugugu bafune abakulembeze b'omulembe gwabwe.

Yayongeddeko nti bwe banaalemwa baakusigala mu byalo kusamba nnanda kuba ne Museveni abantu gwe batinkiza naye obuvubuka yabukozesa okulwanyisa effugabbi lya Obote.

Poliisi etabangula olukiiko BannaDP baabadde bakyagenda mu maaso n'okuteesa poliisi n'eyingirawo ng'ekulemberwa DPC n'ebalagira okwamuka ekifo kuba tebaafunye lukusa era olwamaze okulya emmere buli omu n'atambula ng'adda gye yavudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...