TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Betti Kamya asabye abasumba okusitukiramu balwanirire ekitiibwa kyabwe

Minisita Betti Kamya asabye abasumba okusitukiramu balwanirire ekitiibwa kyabwe

Added 29th July 2019

Minisita Betti Kamya asabye abasumba okusitukiramu balwanirire ekitiibwa kyabwe

 Minista Betti Kamya wakati ye Musumba David Kiganda nga basala cake

Minista Betti Kamya wakati ye Musumba David Kiganda nga basala cake

MINISITA wa kampala asabye abasumba b'abalokole okusitukiramu  okulwanirira  ekitiibwa ky'obusumba okulwanyisa  bannaabwe abakityoboola .

"Omusumba n'oyimirira ku katuuti n'oswaza mukyala wo mu lujjude , abasumba musitukiremu  mulina kuba kyakulabirako eri abagoberezi  omusumba omu bwasobya  namwe kibatwaliramu okwonoona ekifaananyi  " Kamya bwe yategeezezza      

Betti Olive Namisango Kamya minisita wa kampala   yasinzidde ku mukolo gwe yabaddeko ng'omugenyi omukulu  ogw'okukulisa omulabirizi David Kiganda ow'ekkanisa ya Christianity Focus Centre okufuna ekitiibwa kya Dokita  ekyamuwereddwa  Yunivasite ya Divinity -Zoe Life Theological College esangibwa mu USA  abalala abaawereddwa ng'ekitiibwa kino kuliko omulamuzi  Catherine Bamugemereire ,Rev Patrick Semambo , SCP Wilson Otuna omumyuka wakulira poliisi erwanyisa obutujju  , Hon David Bahat n'abalala

Kamya yagambye nti  Uganda erimu eddembe ly'okusinza  ng'abamu balikozesa obubi  ng'abasumba b'abalokole  balina okusitukiramu okulwanirira ekitiibwa  ky'obusumba balwanyise abakityoboola kuba balina okuba eky'okulabirako eri abagoberezi baabwe n'eggwanga lyonna , yagasseko nti omusumba akwata atya akazindaalo ku katuuti n'aswaza mukyala we mu lujjudde.

Yagasseeko n'alabula  abaagala  ebitiibwa  bye batakoleredde n'addala abavubuka nga balina kusooka okuyitako mutanuulu si kukeera ku makya  ne bagamba nti  bagala bwa pulezidenti  nga bavudde mu kuyimba  .yasiimye omusumba Kiganda lw'okufuna ekitiibwa kya Dr kye yagambye nti kimusaana okusinzira ku byazze akola .

"Omuntu toyinza kukeera kuva mu kuyimba nti oyagala bwa pulezidenti sooka oyiteko mutanuulu " Kamya bwe yategeezezza

Nabbi S.K Brobbey  okuva e Ghana  eyagaddewo olukungaana lw'abawereza abaavudde mu makanisa g'abalokole mu ggwanga olubeerayo buli mwaka  olumaze wiiki nnamba ku kkanisa ya Christianity Focus Centre  n'omulamwa ogugamba nti (Ki ki ky'olina mu nnyumba yo), Brobbey  yavumiridde abawerezza ab'ekibogwe n'abasaba okudda ku mulamwa okulaba nga batereeza enju ya katonda, wakati mu kubulira  Brobbey yayingidde mu mwoyo mutukuvu okukakana ng'amukubye ekigwo ng'era kyamutwalidde eddakiika 5 okusituuka wansi  

Dr Bishop David Kiganda yategeezezza nti bannaddiini balina okusitukiramu  okuzimba omusingi gwe njiri entuufu gye babuulira abagoberezi  kuba gavumenti tesobola  kutereeza kintu kye tatandika , Kiganda yagambye nti yagenda okutandika ekkanisa mu kisenyi yasanga ekifo kijjuddemu obumenyi bw'amateeka okuli obubbi, obwamalaaya nga bino byonna bigenda bifuuka Lufumo 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...