TOP

Bapangisizza owa Safe Boda ne bamutemula

Added 29th July 2019

Bapangisizza owa Safe Boda ne bamutemula

OWA bodaboda omulala attiddwa mu ntiisa ne bamutwalako pikipiki ye. Baamupangisizza kuva Kajjansi ne bamutugira mu kkubo, omulambo ne bagusuula e Butambala.

Alex Ssenzira 39, abadde avugira mu kkampuni ya Safe Boda. Ono ye wa boda asoose okuttibwa n'amanyibwa ng'akolera kkampuni za bodaboda ezassibwawo. Enzita ya Ssenzira eyawukana ku nzita ebaddewo emabega abatemu mwe babadde bakozesa ennyondo okutta nnannyini bodaboda gye baba baagala okubba. Ssenzira baamutuze butuzi nga bakozesa omuguwa.

Baamusse mu kiro ekyakeesezza olwa Ssande. Mu bulago bwa Ssenzira mwasangiddwaamu omuguwa n'akagoye ke bazinga mu bulago okwetangira empewo okuyingira mu mawugwe (Scurf). Ku magulu ge kwabaddeko omuguwa gwe baamusibye ebigere. Abatemu baabadde n'ekiso kyokka tebaakikozesezza.

Omulambo gwa Ssenzira gwasangiddwaako ekiwundu kimu ku ttama, era nga kitono nnyo okuba nga kye kyamusse. Bambega ba poliisi abaggyeewo omulambo baagambye nti, Ssenzira basoose kwagala kumutugisa ‘Scurf' gye yabadde nayo mu bulago bwe yagaanyi okukola kye baagala, kwe kumuyimbamu omuguwa ne bamutuga.

Ssenzira abadde mutuuze w'e Kazo mu Municipaali y'e Kawempe era olwamaze okumutta, akuuma ke bateeka mu pikipiki okuzirondoola baakaggyeemu ne bakamuteeka ku mubiri. Essimu ye, ebikoofiira bibiri, jaketi eriko amannya n'ennamba ye mu Safe Boda nabyo abatemu babireseewo.

OMULAMBO BAGUSANZE MU MUGGA

Ssenzira we baamuttidde, kumpi n'omugga Kasuku. Abatuuze abaabadde bakedde okukuba bulooka mu kirombe ekiri okumpi n'omugga mwe baasudde Ssenzira be baalabye omulambo nga gutengejjera ku mazzi nga wabbali we wali ebintu bye okuli ebikoofira by'oku mutwe bibiri (helmet), essimu eyamuweebwa kkampuni kwe bafunira bakasitoma ne bakama be kwe basinziira okumulondoola, ejjambiya, emiguwa n'engatto ze.

Abatuuze olwalabye omulambo, baakubidde poliisi y'e Kabasanda eyakizudde nti, Ssenzira baamupangisizza kuva Kampala ne bamutwala e Kabasanda gye baamuttide. Omulambo gwasangiddwa nga guvaamu omusaayi mu nnyindo ne mu matu. Poliisi okuva e Kabasanda n'e Kibibi yannyuludde omulambo mu mazzi n'egutwala mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Gombe ng'omuyiggo gw'abatemu bwe gugenda mu maaso.

 nnyumba senzira gye yazimbira nnyina e omba Ennyumba Ssenzira gye yazimbira nnyina e Gomba.

 

ABA BODA BATANKANA ENZITA YA MUNNAABWE

Abamu ku ba bodaboda e Kalamba baategeezezza nti abatemu bandiba nga baasoose kutuga Ssenzira omulambo ne bagusuula mu mugga awatali bantu era nga bandiba nga baabadde bamanyiwo bulungi.

Bongerako nti waliwo munnaabwe eyabagambye nti yalabyeko pikipiki bbiri ezaabadde ziyimiridde mu katundu ako nga bagezaako okumulisiza bannaabwe abaabadde basuula Ssenzira mu mwala. "Tutebereza nti abatemu baabadde bamanyi bulungi ekifo we baakoledde obutemubuno oba nga baabadde baakirambudde nga tebannamupangisa kumuleetayo."

Aba Bodaboda bwe baategeezezza. Kiteeberezebwa nti abatemu baamupangisizza okuva mu kibuga nga bamugambye kubatwala mu bitundu by'e Gomba gy'azaalwa, kyokka bwe baabadde banaatera okutuuka e Kibibi ne bamwefuulira ne bamusiba ekigoye (sikaafu) mu bulago ne bamutuga nga beeyambisa omuguwa ne bamusuula mu mugga.

EMIRANGA NG'OMULAMBO BAGUTUUSA EWA NNYINA

Omulambo gwaggyiddwa mu ddwaaliro e Gombe ne bagutwala mu maka ga nnyina, Imelda Nannono e Kasaka. Maama byamuweddeko ng'asobeddwa era obwedda akaaba agamba nti omwana we abadde yaakamuzimbira ennyumba empya.

Wakati mu miranga maamayayongeddeko nti mutabani we yabakubidde ku Lwomukaaga ku ssaawa 11:00 ez'olweggulo n'abasuubiza okubalabako ekiro ekyo era yabadde waakutuuka ku Lwamukaaga kiro olwo asuleyo babeera bonna ku Ssande. Kiteeberezebwa nti abatemu be basaabaze be yasembye okufuna era bwe baamugambye nti badda ludda lw'e Gombe n'asiibula lumu agende nabo gye baamuttidde.

Omu ku booluganda ayitibwa Kiwanuka Kiganda yagambye nti Ssenzira bwe yamaze okubategeeza nti ajja, yamulinzeeko naye ng'alaba obudde buzibye nnyo n'abivaako ng'agamba nti anaawulira ng'atuuse n'amwaniriza.

Obudde bwe bweyongedde okuziba, eby'okumulinda yabivuddeko ng'alowooza nti osanga aliko banywanyi be be yasisinkanye mu kafo akayitibwa ku ‘Nsalo' nga kano ke kaawula Gomba ku Butambala w'abadde atera okumalira ku budde ne banywanyi be buli lw'addako mu kyalo.

MULO NE MUGISHA POLIISI EBONGEDDEKO EMISANGO;

Abatemu bagenze okutemula Ssenzira nga poliisi n'ebitongole by'ebyokwerinda ebirala bateekateeka okutwala Young Mulo ne John Bosco Mugisha mu kkooti.

Ku Lwokuna, Mulo ne munne abagambibwa okutta aba bodaboda okuli ne Derrick Muwonge baagasimbagana n'abalamuzi ku kkooti e Mengo ne bamugamba nti tebajja kubamalira biseera (Abalamuzi) wabula babasalire ekibonerezo.

Wabula kino tekijja kubalobera kusimbibwa mu kkooti batandike okuwoza. Mulo ne Mugisha poliisi yabongeddeko omusango omulala ogw'okutta owa boda boda Tom Wamala eyali omutuuze w'e Lunnya e Nalumunye mu ggombola ya Makindye Ssaabagabo nga June 1, 2019.

Wamala yali akolera kumpi ne Orange bar e Nalukolongo abatemu we baamuggya nga bamugambye abatwale e Makindye ne bamwefuulira ne bamukuba ennyondo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...