TOP

Ebikwekweto bya Poliisi bitabudde ab'e Nabweru

Added 29th July 2019

Ebikwekweto bya Poliisi bitabudde ab'e Nabweru

ABATUUZE ba Nabweru South mu munisipaali y'e Nansana balaze okutya olw'ebikwekweto bya poliisi ebikolebwa mu kitundu kyabwe nga tebasoose kwebuuza ku bakulembeze baabwe.

Nga  bakulembeddwaamu kansala Tonny Kiyita bagamba nti ebikwekweto bino bitwaliramu abantu baabwe  abatalina musango. 
Balumirizza nti  abamu ku bantu abaakwatibwa poliisi mu kikwekweto kye yaakakola baabasanga bava ku mirimu gyabwe nga baabalanga mwemagge.

Yasabye abatuuze okufaayo okutambula n'ebiwandiiko ebiboogerako kubanga bwe bakwatibwa kibeera kizibu okumanya nti batuuze b'e Nabweru  okusobola okuyambibwa. Yagambye nti poliisi yandibadde ekolagana n'abakulembeze b'ekitundu nga bakola ebikwekweto okusobola okwewala okukwata abantu abatalina musango.

Kino w'e kiggyidde nga poliisi n'amagye bikyagenda mu maaso n'okukola ebikwekweto mu bitundu by'e  Nansana omuli; Naluuma, Kibulooka n'ebitundu ebirala abantu bye baludde nga beemulugunyaako nti birimu obumenyi bw'amateeka. 

Ssentebe w'ekitundu yayatuulidde abazadde nga bwe basibye obumenyi bw'amateeka mu kitundu kyabwe kubanga  ebiseera ebisinga abazadde babikirira abaana baabwe ababeera beenyigidde mu bumenyi bw'amateeka.

Yayongeddeko nti ebiseera bingi abaana b'omu kitundu baliko bannaabwe be bakolagana nabo okuva mu bitundu ebirala nga bano beegatta ne batigomya ekitundu kino kyokka abazadde baabwe nga tebaagala kuboogerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....

Bebe Cool.

Bebe Cool alabudde Nubian L...

Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza...