TOP

Ab'e Nabweru beekalakaasizza lwa luguudo

Added 29th July 2019

ABATUUZE b’e Nabweru mu munisipaali y’e Nansana bavudde mu mbeera ne bagumba mu luguudo nga balaga obutali bumativu bwabwe oluvannyuma lw’abagagga mu kitundu okuddukira mu kkooti eyimirize okuzimba oluguudo mu kitundu kino.

 Abatuuze nga beekalakaasa.

Abatuuze nga beekalakaasa.

Bya STEVEN KIRAGGA
 
ABATUUZE b'e Nabweru mu munisipaali  y'e Nansana bavudde mu mbeera ne bagumba mu luguudo nga balaga obutali bumativu bwabwe oluvannyuma lw'abagagga mu kitundu okuddukira mu kkooti eyimirize okuzimba oluguudo mu kitundu kino. 
 
Bano okuva mu mbeera kyaddiridde amawulire okusaasaana ng'abagagga basatu nga bakulembeddwaamu Haji Mahad Katamba ne bannne bwe baddukidde mu kkooti Enkulu mu Kampala nga baagala eyimirize okuzimba oluguudo ekintu ekitasanyudde batuuze.
 
Abatuuze bano baabadde beesomye okukuuma omuliro ku bizimbe by'abaggagga okuli ekya Mahad Plaza ekisangibwa mu Kafunda e Nabweru wabula bano ne balemesebwa poliisi n'abakulembeze b'omu kitundu. 
 
Oluguudo luno oluweza kkiromita emu n'ekitundu luludde nga lujjudde ebinnya ate lufunda ekireetedde obubenje okweyongera.
 
Kontulati y'okuzimba oluguudo luno yaweebwa kkampuni ya Newton Construction era okuluzimba ne kutongozebwa RDC wa Wakiso, Rose Kirabira ng'okuzimbibwa kwonna kwabalirirwamu 1,100,000,000/-. 
 
Abatuuze abaabadde batasalikako musale baagumbye mu luguudo okulaga obutali bumativu bwabwe era wano abakulembeeze okwabadde ne ssentebe w'ekitundu kino, Dorothy Nankya ne bawera obutagenda kutunula nga abantu aboolubatu balemesa ebyenkulaakulana mu kitundu kyabwe.
 
Abakulembeeze b'e Nansana nga bakulembeddwaamu sipiika wa munisipaali, Musa Kalungi baategeezezza nti ensonga zino zigenda kutwalibwa mu lukiiko lwa munisipaali bateme empenda okulaba nga bonna abatakkiriziganya na bigenda mu maaso batuuzibwa, ensonga zaabwe ne zitunulwamu.
 
Gwe balumirizza annyonnyodde
Omugagga Haji Mahad Katamba abantu gwe beemulugunyako yategeezezza nti tebalwanyisa nkulaakulana wabula bannabyabufuzi be baagala okwonoona ssente z'omuwi w'omusolo.
 
Yayongeddeko nti ekyabatutte mu kkooti kwe kulaba ng'eyimiriza okuzimba okugenda mu maaso kuba kwa gadibengalye.
 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

Bannabayabufuzi mutuyambe t...

ABATUUZE b'e Ntebe mu butundu by'e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n'abazirakisa okubayamba...