TOP

Amateeka g'olina okugoberera ku yunivasite

Added 29th July 2019

Amateeka g’olina okugoberera ku yunivasite

OMWEZI ogujja abayizi ba yunivasite bagenda kutandika olusoma lwabwe olutandika omwaka. Abayizi naddala abava mu siniya beesunga kubanga bamanyi bawonye amateeka ga siniya gye babadde bafugibwa okuva ku ntambula, ennyambala okutuukira ddala mu kibiina mw'asomera.

Bamanyi nti ku yunivasite bajja kukola buli kye baagala olw'eddembe lye bawulira babawa. Wadde ku yunivasite ebaayo eddembe baba n'amateeka agabafuga wadde teri ajja kukutambulirako kugassa mu nkola.

Abayizi abamu eddembe balikozesa bubi oluusi ne balemererwa okutuukiriza ebirooto byabwe. Agamu ku mateeka agalina okugobererwa mu yunivasite ezenjawulo ge gano; MAKERERE UNIVERSITY Dr. Muhammad Kiggundu Matovu omwogezi wa yunivasite, yagambye nti yunivasite mu nteekateeka yaayo, eruubirira okutendeka omuyizi okusobola okwerabirira yekka nga teri amugoberera.

Y'ensonga lwaki obulippo obussibwa ku muyizi tebuba bungi nga bwe bubadde mu siniya. Amateeka ga yunivasite gonna gye gava ne gye gakoma gagenderera kuyigiriza muyizi okukolagana n'abantu abembeera ez'enjawulo n'okumwagazisa okwerwanako.

Y'ensonga lwaki amateeka ga yunivasite gawa omuyizi eddembe okweyisa nga bw'ayagala ssinga aba akola ebyo yunivasite by'eragira. Agamu ku mateeka gano kuliko;

  1. Okusoma: ,Omuyizi atwalibwa okuba nti muntu mukulu asobola okwekubiriza. Olina okuba nga waakiri obadde mu kibiina ebitundu 80 ku 100 okukkirizibwa okutuula ebigezo ebikomekkereza olusoma. Mu mbeera eno bwodda mu kucakala n'otosoma okusoma kuyinza okukulema.
  2. 2 Ebigezo: Bino byawulwamu emirundi ebiri. Waliyo ekitundu ekya ‘Course Work' nga bakuwa ekibuuzo n'ogenda okunoonyereza mu kukiddamu ate ekitundu ekirala kya bigezo ebiggalawoolusoma.
  3. Yunivasite tekaka bayizi kukola bigezo. Etteeka ligamba nti ‘Course work' atwala obubonero bwa bitundu 30 ku 100 ate ekigezo ekisembayo kitwala ebitundu 70 ku 100. Ssinga oba tokoze ‘Course work' totawaana na bigezo byakamalirizo. l Ssinga omuyizi aba takoze bibuuzo 3 ku masomo 6 g'aba akola, ono takkirizibwa kweyongera mu maaso. Alina okuddamu olusoma olwo. l Omuyizi bwaba yagwa ekigezo ekisooka bamuwa okukissa okukiddamu. Wabula ssinga bw'oddamu toweza bubonero 50 ateekwa okuddamu olupapula olwo nga tannaba kutikkirwa. Omuyizi alina okulusasulira okusinziira ku mwaka gw'ebyensimbi ogwo. l Omuyizi bwakola obubi mu bigezo n'afuna obubonero (CGP) obuli wakati wa 2-2.5 CGP mu mwaka omulamba awummuzibwa agende yeetereeze era oluvannyuma lw'omwaka aweebwa omukisa n'akomawo. Ssinga akomawo n'alemererwa okukyusa olwo yunivasite esobola okumugoba. l Omuyizi abadde akola obulungi nga taddangamu kigezo olwolumu ssinga afuna obubonero nga 47 ku 100 bayinza okumwongerako obubonero busatu n'awona okuddamu ekigezoEmyaka gy'olina okumala ku yunivasite: Omuyizi tebamusuubira ku kandaalira ku yunivasite. Ekinene ennyo kkoosi bw'eba ebadde ya myaka 3 okkirizibwa okugisomera emyaka 5 ssinga olaga ensonga ezizze zikulemesa okusoma ne balaba nga zirimu eggumba. 4 Okubba ebibuuzo: Ssinga omuyizi akwatibwa ng'akoppa, ayinza okugobwa oba okuyimirizibwa. 5 Ensasula ya fiizi: Omuyizi aweebwa wiiki 6 ng'amazeeyo ebisale bya yunivasite era ssinga ‘Course Work' oba ebibuuzo ebikomekkereza olusoma bituuka ng'omuyizi tannamalayo fiizi takkirizibwa kukola bibuuzo nga ne z'aba asasuddeko tezimuddizibwa. 6 Okukyusa University: Omuyizi abadde asomera e Makerere okukyusa agendE awalala ng'ayongereza we yakomye tekikola. . 7 Emize agenda e Makerere gy'ateekwa okwewala; Omuyizi ssinga akwatibwa mu bikolwa ebikyamu atwalibwa mu lukiiko olukwasisa empisa okwewozaako. Bwe gumusinga ng'afuna ekibonerezo kyonna olukiiko kye luba lusazeewo. Efujjo; Omuyizi takkirizibwa kwenyigira mu bikolwa bya ffujjo. Emize emirala omuli obubbi, n'okulwana. Dr.Kiggundu awadde abayizi amagezi obutacamuukirira na ddembe lye bafuna wabula okulikozesa okukuza endowooza zaabwe. MAKERERE BUSINESS SCHOOL(MUBS) NAKAWA Omwogezi wa Mubs, Peter Simon Odoki, alambuludde ku mateeka abayizi ge balina okugoberera. Ensasula ya fiizi: Omuyizi ateekwa okusasula mu wiiki 6 ezisooka. Yunivasite tekugoba mu kibiina naye olina okwekubiriza ebigezo bituuke nga weetereeza dda. Omuyizi ateekeddwa okubeera mu bibiina ekiseera kya bitundu 75 ku 100 era ssinga takituukiriza takkirizibwa kukola bigezo. Course work naye wa tteeka ku buli muyizi olw'ensonga nti akola ebitundu 40 ku 100 ku bubonero obwakamalirizo. Ebigezo bye bitwala ebitundu 60 ku 100. Omuyizi atakoze ‘Course Work', n'ekibuuzo takkirizibwa kubikola. Omuyizi atewezezza bubonero 50 ku 100 mu kibuuzo ky'azzeemu, ateekwa okukiddamu n'akikola mu mwaka omulala. Buli kibuuzo ky'oddamu okisasulira 20,000/-. Omuyizi afiirwa ddi olusoma: Ssinga omuyizi agwa ebigezo ebisinga bamulagira naddamu olusoma lwonna so si mpapula zagudde. Yunivasite teyingiza muyizi mu makkati ga kkoosi olina kutandikirawo n'omalira ddala. Okusazaamu olusoma: Omuyizi ssinga ofuna ekizibu nga tojja kusobola kusoma omuli obulwadde, ebyenfuna, asobola okusaba nawummuzibwa n'aweebwa,omwaka n'asooka yeetereeze. Emyaka omuyizi gy'alina okusomera: Omuyizi bamukkiriza okumala kkoosi mu myaka 5. Omuyizi aweereddwa omukisa okuddamu ebibuuzo bye yagwa n'alemwa enfunda eziwera, yunivasite, esobola okuwa omuyizi oyo ‘Conside Pass n'emuta n'afuluma. Obubbi bw'ebigezo tekukkirizibwa omuyizi agobwa oba okuweebwa ekibonerezo. MBARARA UNIVERSITY OF SCIENCE TECHNOLOGY, Omuyizi alina okusasula ebitundu 50 ku 100 ku ssente za fiizi mu wiiki 6 ezisooka ng'olusoma lutandika era teri muyizi akkirizibwa mu kibuuzo nga tamazeeyo fiizi. Omuyizi alina okubeera mu kibiina. Ssinga omuyizi abula okumala omwaka nga tategeezezza yunivasite, omwaka bagusazaamu. Ebigezo bya tteeka ku buli muyizi: omuyizi ateekeddwa okukola ebibuuzo byonna okuva ku ‘Course work' ezikolebwa wakati mu lusoma. Bw'ogwa ekigezo olina okukiddamu naye kisasulira. Omuyizi akwatiddwa mu bubbi bw'ebigezo, ayinza okugobwa oba okuweebwa ekibonereza. Akwatiddwa mu bikolwa nga obubbi, obutemu n'ebirala yunivasite emukwasa poliisi n'avunaanibwa. Emikwano omuyizi gy'afuna nga yaakayingira yunivasite gikola kinene ku ngeri gy'atambuzaayo emisomo gye. KYAMBOGO UNIVERSITY Nga onoosoma bulungi eno oteekwa okussa amaanyi mu kusoma ebitabo olw'ensonga nti nayo buli kigezo ky'ogwa okisasulira. Omuyizi akoppa agobwa. Omuyizi ayingira mu kibuuzo nga tafunye lukusa, naye bw'akwatibwa. N'amalala nga bwe gali ku yunivasite y'e Makerere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...