TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nyanzi ateze Gav't akalippo okulemesa omusango gwe okusalwa

Nyanzi ateze Gav't akalippo okulemesa omusango gwe okusalwa

Added 29th July 2019

NGA wabula ennaku ssatu zokka kkooti ya Buganda Road esale omusango gwa Dr. Stella Nyanzi, ateze gavumenti akalippo okugiremesa okugusala bw'asabye kkooti eronde omulamuzi omulala aba aguwulira kubanga agulimu takyamwesiga.

 Dr. Stella Nyanzi ng'ali mu kkooti.

Dr. Stella Nyanzi ng'ali mu kkooti.

Kati okusala omusango gwe okubadde kusuubirwa okubaawo nga August 1, 2019 kuli mu lusuubo nga omulamuzi wa kkooti Enkulu Jane Frances Abodo agenda kusalawo ku Lwokusatu lwa wiiki eno oba nga akkiriza okusaba kwa Nyanzi.

Nyanzi ayanjudde ensonga ze eri kkooti Enkulu omubadde okulumiriza omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Gladys Kamasanyu okugaana okuteeka amaanyi ku bajulizi be 20 okubaweereza ebiwandiiko ebibayita okujja mu kkooti bamuwolereze nga bwe yamusaba.

Nyanzi era anenyezza omulamuzi Kamasanyu okulagira ku mpaka omusango guggalwe ng'ate abajulizi be baali tebannajja kumuwolereza n'agamba nti yalaga kyekubira era asaba omusango gumuggyibweko guweebwe omulamuzi omulala y'aba aguwulira.

Wabula looya wa gavumenti Timonth Emerit ategeezezza kkooti nti obuzibu bwa Nyanzi bwonna buva ku looya ye Isaac Ssemakadde eyalemererwa okuyita abantu abagenda okuwolereza Nyanzi nadda mu kulowooza nti kkooti y'egenda okubamuyitira.

Agambye nti Nyanzi okugenda mu kkooti Enkulu ng'omusango gwe gunaatera okusalwa bumu ku bukodyo bwe obw'obutava Luzira.

Nyanzi mu kkomera e Luzira abaddeyo okuva nga October 2019, yagaana okumweyimirira yadde kkooti yali emuwadde omukisa gw'okusaba bamukkirize aleete abagenda okumweyimirira.

Avunaanibwa emisango ebiri omuli ogw'okukozesa obubi yintanenti n'okwogera ebinyiiza Pulezidenti Museveni bwe yamulumbira ku Facebook ng'amuvuma ne nnyina amuzaala omugenzi Esiteri Kokundeka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...