TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka ayise Sultan Muhammad ow'e Nigeria ku matikkira ge

Kabaka ayise Sultan Muhammad ow'e Nigeria ku matikkira ge

Added 29th July 2019

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III ng’ono ye mukulembeze w’eggwanga lya Sokoto mu nsi y’e Nigeria okubeerawo ng’omugenyi ow’enjawulo ku matikkira ge ag’emyaka 26.

 Kabaka Mutebi II n'omugenyi we Sultan Muhammadu Sa'ad Abubakar III nga bafulumye Twekobe.

Kabaka Mutebi II n'omugenyi we Sultan Muhammadu Sa'ad Abubakar III nga bafulumye Twekobe.

Ekikolwa kino kimu ku bigendererwa bya Kabaka eby'okwongera okutumbula enkolagana n'obukulembeze bw'ennono obulala okwetoloola ensi. Omwaka oguwedde ku mikolo gy'emyaka 25 bukya atikkirwa, Kabaka yasiima nayita Asantehene Osei Tutu II nga yatwala Obwakabaka bwe Asante mu Ghana.

Sultan atuuka kkiro ekikeesa olunaku lw'enkya nga wakwetaba ku mukologw'amatikkira ku Lwokusatu ku yunivasite e Nkumba, ayanirizibwe mu butongole e Bulange-Mmengo ku Lwokutaano, era kwoolwo agende yetabe mu kusaala e Kibuli oluvannyuma addeyo e Nigeria.

Sultan ono yajjako kuno mu November 2017 era naakyalako mu Lubiri e Mmengo.

EBIKWATA KU SULTAN MUHAMMADU SA'AD ABUBAKAR III:

Sultan Abubakar III ye mukulembeze owa 20 ow'abantu b'ekitundu ky'e Sokoto ekisangibwa mu bukiikakoono bw'e Nigeria era ng'ono yakulira ekibiina ekitumbula Obusiramu ekiyitibwa Jama'atu Nasril Islam-JNI (Mu Lungereza ekisomwa nti ‘Society for the Support of Islam).

Ye Mukulembeze ow'okuntikko ow'olukiiko olugatta abasiramu mu Nigeria (National Supreme Council For Islamic Affairs-NSCIA. Mu bukulembeze bwe buno yatwala abasiramu b'e Nigeria abawera obukadde 70.

Sa'ad Abubakar III yazaalibwa  August 24, 1956 mu kitundu ky'e Sokoto nga yasikira muganda we Muhammadu Maccido eyafiira mu kabenje k'enyonnyi nga 29 October 2006.

Azaalibwa Siddiq Abubakar III era musajja munnamagye ng'ali ku ddaala lya Brigadier general.

Mu kusoma yayita mu  Nigerian Defence Academy, Armed Forces Command and Staff College, Jaji, Barewa College n'amattendekero amalalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...

Omukazi yabuuka n'eyavaako ...

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo...

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.

ManU tetidde Crystal Palace

LEERO (lwamukaaga) zaakudda okunywa batabani ba Ole Gunnar Solskjaer (aba ManU) bwe banaaba balwana okukakasa ensi...

Bashir Mutanda

Mbarara etutte Bashir Mutanda

MBARARA City FC eraze amaanyi bw’esitukidde mu abadde omuteebi wa SC Villa, Bashir Mutanda n’assa omukono ku ndagaano...

Kizza (ku ddyo) ng’akwasa Mayeku omujoozi gwa URA.

Tukooye ennyonta y'ebikopo ...

SSENTEBE wa URA FC, James Kizza agambye nti ennyonta y’ebikopo ebasusseeko nga sizoni eno baagala basitukire mu...