TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannannyini mawooteri bongedde Suzan Muhwezi ekisanja

Bannannyini mawooteri bongedde Suzan Muhwezi ekisanja

Added 29th July 2019

Bannannyini mawooteri bongedde Suzan Muhwezi ekisanja

 Minisita Kiwanda Ssuubi ng'akwasa Suzan Muhwezi satifikeeti emukakasa okudda ku bwa ssentebe bwa bannannyini ba Mawooteri mu Uganda

Minisita Kiwanda Ssuubi ng'akwasa Suzan Muhwezi satifikeeti emukakasa okudda ku bwa ssentebe bwa bannannyini ba Mawooteri mu Uganda

Bya Patrick Kibirango

MINISITA w'ebyobulambuzi mu ggwanga Godfrey Kiwanda ssuubi akubirizza bannannyini  mawoteeri mu ggwanga  okufuba okukuuma omutindo mu bifo byabwe okugeza nga bakozesa abakozi abamanyi kyebakola,nga bakuuuma obuyonjo obusingayo  olwo basobole okwongera okutumbula eby'obulambuzi mu ggwanga.

Kiwanda okwogera bino abadde mu lukung'aana lwa bannannyi mawoteeri olutuuzibwa buli mwaka olubadde ku Sheraton enkya ya leero mwebalondedde n'obukulembeze obupya era nga Suzan Muhwezi abadde ssentebe w'ekibiina kino ekimanyiddwa nga Uganda Hotels owners Association UHOA yadiziddwako bwatyo n'awera okulwana okulaba nti omutindo gw'amawooteri gw'ongera okulinnya mu ggwanga.

Mungeri yeemu Suzan atisse minisita Kiwanda obubaka ng'asaba egimu ku misolo ejibabinikibwa bagibakendeerezeeko omuli ogw'amazzi,amasannyalaze n'ebirala.

Daudi Migereko Ssentebe wa Uganda Tourism Board yasabye gavumenti eyongere ku muwendo gwa ssente zeteeka mu by'obulambuzi kuba bikola kinene nnyo kunyingiza ye ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...