TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Mulo gyeyasimattuse aba Boda boda ku kkooti

Engeri Mulo gyeyasimattuse aba Boda boda ku kkooti

Added 30th July 2019

Engeri Mulo gyeyasimattuse aba Boda boda ku kkooti

 Aba bodaboda abaasazeeko kkooti.

Aba bodaboda abaasazeeko kkooti.

Oluvannyuma lw'eddakiika ttaano zokka nga Young Mulo ng'atuusiddwa ku kkooti, abavuzi ba bodaboda baabadde bamaze okusalako ekifo nga balekaanira waggulu nti "mumutuwe tumukoleko.

Leero naye wano tavaawo nga mulamu." Poliisi yabadde ng'eyakitegeddeko nti aba bodaboda bajja kuzinda kkooti, bwetyo n'eyungula abaserikale bakira abatevuunya nga munyeera mu luggya lwa kkooti ya LDC e Makerere.

Abaserikale baasibye emiryango gyonna egiyingira mu kkooti ne bagaana omuntu yenna okuyingira okuggyako abaserikale n'abakozi ba kkooti. Bannamawulire nabo baabasibidde bweru.

Mulo yatuusiddwa ku kkooti ng'essaawa ziyise mu 6:00 ez'emisana. Yabadde ku kabangali ya poliisi eyabadde ewerekerwa kabangali endala bbiri. Yatwaliddwa mu ofiisi y'Omulamuzi Roseline Nsenge eyamukozesezza sitatimenti mu musango gw'okutemula owa bodaboda omulala.

Mulo alina emisango gy'okutta aba bodaboda munaana okuva ku Derrick Mulindwa gwe yatta ng'ali ne John Bosco Mugisha e Kakeeka-Mengo nga June 30, 2019. Nga yaakatuuka, aba bodaboda nabo waayiseewo eddakiika ntono ne baatandika okujja mu bibinja era oluvannyuma lw'eddakiika nga 30, baabadde bamaze okusalako ekitundu.

Bakira bayisaamu amaloboozi nga balekaana bwe basaba abaserikale babawe Mulo bamukoleko. Mulo yamaze ew'Omulamuzi essaawa 1:30 olwo n'aggyibwayo. Nga tannafuluma, abaserikale baasoose kusiba nguudo okuli olugenda ku LDC (Law Development Centre) ne bayimiriza emmotoka zonna ne bodaboda. Oluvannyuma bagguddewo omulyango omunene ogw'olukomera lwa kkooti ne beebulungula kabangali zonsatule ezaaleese Mulo ne bamufulumya.

Aba bodaboda baasigaddewo ku kkooti okumala ekiseera nga bali mu bukukuulu bawera nti "ssinga tumukutteko." Abalala: waakiri twandimulabyeko omusajja atutadde ku bunkenke, omutemu.Mulo yasoose kukola sitatimenti mu kkooti y'e Mengo ku Lwokuna oluwedde mwe yakkiririzza okutemula Mulindwa.

Poliisi yategeezezza nti bafunye obujulizi obuluma Mulo okutemula aba bodaboda abalala munaana(amannya galekeddwa) okuli gwe yakoleddeko sitatimenti eggulo. Omuntu akkirizza omusango gwa nnaggomola omuli okutta atwalibwa mu maaso g'Omulamuzi n'akola sitetimenti emanyiddwa nga "Extrajudicial Statement" ng'eno Mulo ye yamutwazizza e Makerere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...