TOP

Abatuuze bookezza amasabo g'omusamize

Added 30th July 2019

Abatuuze bookezza amasabo g’omusamize

 Essabo lya Yiga lye baayokezza.

Essabo lya Yiga lye baayokezza.

ABATUUZE bavudde mu mbeera ne bookya amasabo g'omusamize abaddenga asawula Mulo ng'agamba nti amuyamba okumukolera ku misango gye baleme kumukwata. Amasabo gano agasangibwa ku kyalo Kiwumu - Bukalango mu ggombolola y'e Kakiri mu Wakiso gaayokeddwa abatuuze abaabadde abanyiivu oluvannyuma lw'omusamize Dan Yiga amanyiddwa nga Galaba okukweka ababbi.

Baagookezza gonna ne gasirikka era ne bawera nti buli kintu eky'omusamize ono bajja kukisaanyawo okukakasa nti tadda ku kyalo kyabwe. Abatuuze nga bali wamu n'abakulembeze b'omu kitundu baasoose kukubaganya birowoozo ku ky'okugoba Yiga ku kyalo kyokka olukiiko lwabadde lukyagenda mu maaso, abamu ku batuuze ne beecanga ne balumba amasabo ne bagateekera omuliro ne gateta.

Olukiiko olwabadde lukubirizibwa ssentebe w'e Kiwumu, Joseph Mugwisa, lwatudde ku Ssande akawungeezi nga lwetabiddwamu abatuuze ku kyalo Kiwumu ne Bukalango wabula nga tewali wa poliisi yalwetabyeemu.

EBYASANGIBWA MU MASABO GA YIGA BIWUNIIKIRIZA Amyuka ssentebe w'ekyalo Kiwumu, Musisi Kikulwe y'omu ku baaliwo nga poliisi ekwata Mulo n'omusamize Yiga ng'ebaggya mu masabo era bye yalaba yabitegeezezza abatuuze abaawuniikiridde. Kikulwe yategeezezza nti bwe baayingira munda, baasangamu amasabo 4 nga gano geetooloddwa ekikomera ekinene obulungi.

Ku kikomera kwali kuwandiikiddwako amateeka g'ogoberera ng'ozze okujjanjabwa era nga mwe muli n'etteeka erikugira abakazi abali mu nsonga okuyingira munda.

Baasookera ku ssabo erisooka gye baasanga entaana ennene ng'erimu engoye enjeru n'enzirugavu ezaali ziwerera ddala 40 nga wansi waazo omusamize Yiga yayaliirirayo olubugo. Poliisi bwe yabuuza Yiga lwaki yasima entaana mu ssabo n'ategeeza nti waliwo abalwadde abagendayo nga baliko empewo ya Walumbe nga muno mw'abasooseza ne bawummula nga tannabajjanjaba.

Mu ssabo eryokubiri, mwasangibwamu ennyondo, emisokoto gy'enjaga 10, ekikofi ira ky'abavuzi ba bodaboda ssaako obugoye obuliko omusaayi. Poliisi yabuuza omusamize ebintu bino kye bikola mu ssabo n'ategeeza nti obugoye yabusimuuza omusaayi ogwava ku lugalo lwe nga yeesaze wabula baagenda okumukebera ku lugalo nga talinaako wadde ekiwundu.

Baamubuuza bodaboda gye yaggyako ekikofi ira kye baamusanga nakyo gy'eri nga tayogerayo. Kino kyalowoozesa abatuuze nti osanga ababadde babba bodaboda babadde bazimuteresa.

Agamba nti bwe baakebera essabo eryokusatu ng'eno ekinene kye baasangayo mufaliso wabula Yiga teyannyonnyola poliisi lwaki yaguteeka mu ssabo. Mu ssabo eryokuna, poliisi yasooka kukubayo masasi ag'okumukumu olw'ensonga nti mwalimu enzikiza nnyingi nnyo nga tesobola kulaba kiri munda. Polisi yali ekyakuba amasasi, omusamize n'agitegeeza nti omwo mulimu omuntu mulekere awo okukuba amasasi muyinza okumuttiramu.

Kikulwe yategeezezza nti bwe baayingirayo, kwekusanga Yanga Mulo ng'atudde asirise yeezingiridde amaliba g'embuzi. Poliisi yabuuza omusamize Yanga Mulo kye yali akola mu ssabo, n'abategeeza nti yali azze kumuyunga mukono ogwali gumenyese.

Ssentebe w'ekyalo Kiwumu, Joseph Mugwisa yategeezezza nti omusamize Yiga azze yeetaba mu bikolwa ebikyamu era obwedda bino abyogera ng'abatuuze abaabadde mu lukiiko bawera nga bwe batamwagala ku kyalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...