TOP

Owa LDU attiddwa mu ntiisa

Added 30th July 2019

Owa LDU attiddwa mu ntiisa

NGA tebannamutta, yasoose kugenda ku siteegi ya bodaboda n'apangisa pikipiki olunaku lulamba. Keneddy Nyende 27 ye yagenze ku siteegi y'e Buwenge mu disitulikiti y'e Jinja n'apangisa pikipiki wabula wano we yasanze Daudi Ssekabaga eyamulumirizza bw'ali omubbi wa bodaboda ng'olumu yagezaako okumusalako obulago atwale pikipiki ye.

Ssekabaga omuvuzi wa bodaboda mu kibuga ky'e Buwenge ng'ono yabadde n'ebiwundu mu bulago yategeezezza banne nga Nyende bwe yamupangisa gye buvuddeko okumutwala mu maka ge e Kisozi gye yali amuttidde kyokka n'amusimattuka. Aba bodaboda ebigambo bya Ssekabaga olwabadde okubagwa mu matu ne balumba Nyende ne bamukuba emiggo egyamusse.

Poliisi yagenze okutuuka ng'amaze okufa omulambo ne bagutwala mu ggwanika ly'eddwaaliro lya Buwenge Health Center lV.

Aba bodaboda baalumbye eddwaaliro ne basikayo omulambo ne bagussa mu luggya ne bagukumako omuliro wakati mu kukuba embeekuulo. Abaserikale baayiiriddwa mu bungi era amasasi ne ttiyaggaasi ne bitandika okwesooza.

Abantu baagyanukuzza mayinja obudde ne budda ku bunnaabwo ekyawalirizza oluguudo olugenda e Kamuli okuggalwa. Abantu abamu baalumiziddwa mu kavuvuηηano kano nga kuliko Aisha Namugere ow'e Buwenge ne Sophie Namwase omuyizi ku Buwenge Modern

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...