TOP

Gavumenti ekkirizza Pato okweyimirirwa

Added 31st July 2019

Gavumenti ekkirizza Pato okweyimirirwa

YADDE nga gavumenti yeevunaana Patrick Agaba amanyiddwa nga Pato emisango gy'okuwamba abakazi, yakkiriza okusaba kwe okw'okweyimirira bwe yategeezezza nti tebamulinaako nsonga yonna emugaana kwetaaya.

Pato yakomezebwawo mu ggwanga okuva e South Afica ng'avunaanibwa omusango gw'okuwamba n'okutta Susan Magara naye bwe yatwalibwa mu kkooti e Makindye ate yavunaanibwamu musango mulala gwa kuwamba Joan Alupo n'ekigendererwa ky'okuggya mu bazadde be doola 400,000.

Yawadde ensonga ze kw'asabira okweyimirirwa mu maaso g'omulamuzi Yasin Nyanzi owa kkooti Enkulu looya wa gavumenti Joanita Tumwikkirize n'ategeeza kkooti nti omuwaabi wa gavumenti omukulu ng'ono y'amuvunaana tamulinaako buzibu ssinga abeera yeeyimiriddwa wabula n'asaba bamuteekeko obukwakkulizo okukakasa nti ajja kukomawo mu kkooti buli lwe yeetaagibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...