TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eby'okwewunda n'engatto tubijja mukukola Kasasiro

Eby'okwewunda n'engatto tubijja mukukola Kasasiro

Added 31st July 2019

Eby'okwewunda n'engatto tubijja mukukola Kasasiro

 Bammemba b’ekibiina kya MUWA nga bakola amanda.

Bammemba b’ekibiina kya MUWA nga bakola amanda.

NGA tonnalowooza ku kyakusuula by'oyita kasasiro, wandibadde osooka kulowooza ku by'omuwendo by'osobola okuggyamu n'obifunamu ssente n'ogatta ku nnyingiza yo nga bw'olwanirira n'obutonde bw'ensi. Robinah Nattimba Ssebugwawo, musomesa ku Precious Hours Namere - Mpereerwe, era akola ng'omukugu eyeebuuzibwako mu kitongole kya Education Legacy Uganda.

Annyonnyola nti: Nalaba ng'ebimu ku bikozesebwa mu masomero ebisabibwa abazadde bisukka ne nfuna ekirowoozo ne bannange mu Mpereerwe wansi wa pulojekiti ya Culture Legacy Outreach ne tutandika pulojekiti ya Education Legacy n'ekigendererwa ky'okulaba nti n'abaana abava mu famire ezitalina busobozi nabo bafuna ebikozesebwa.

Tukozesa ebipapula ebya bookisi, obusaanikira bw'amacupa abayizi bwe bakozesa mu kubala, eccupa z'amazzi, obudomola, ne tubyongerako omutindo abayizi ne basoma nga basanyufu. Ebikozesebwa tubironda ku mikolo naddala ebicupa ne cokolo, ebibookisi n'ebirala ne tubigula wakati wa 12,000/- ne 22,000/-.

Tweyambisa obukugu bwa buli omu ku bammemba omukaaga okukola bye twetaaga nga bya mutindo. Mu kino tufunye kontulakiti okutendeka abasomesa mu masomero naddala agali wansi w'ekitongole kya World Vision mu bitundu nga Mityana, Buikwe n'awalala. Emyoleso gye tugendamu tuvaayo tufunye emikwano abatuyambye okukyusa obulamu bwaffe.

OKUSOOMOOZEBWA

Wadde pulojekiti nnungi naye ssente ezisasulwa abakozin'abasomesa olumu tezibaawo olw'okuba abazadde b'abaana tebasasulira mu budde.

 Twetaaga kapito okwongera mu bizinensi.

Entambula nayo etukaluubirira.

EBIKONGOLIRO TUBIKOLAMU ENGATTO

Joanita Nakigudde 26, owa Kongoliro Creations, mutuuze w'e Matugga Lwadda ‘B' mu Wakiso. Yakuguka mu Art & Industrial design ku yinivasite e Kyambogo.

Agamba nti, "Obuyiiya nabuggya ku yunivasite, abasomesa bwe baatulagira okuyiiya ekintu ekitakolwangako, nalowooza ku bikongoliro. Nakola kateni okuva mu bikongoliro era nali omu ku bayizi abaasinga mu ssomo ly'obuyiiya n'okunoonyereza era bwe namaliriza okusoma bye neeyongera okukola okutuusa kati.

Tukozesa ebisosonkole by'amagi, emipiira gy'emmotoka emikadde, ebipapula, ebikongoliro. Nkola ebyokwewunda by'abakyala eby'omu bulago, eby'oku matu okuva mu mpapula n'ebikongoliro n'endeku, obugatto obw'okusonsekamu mu bikongoliro n'ebyangwe, ensawo okuva mu biveera by'amatundubaali, obukwata ebisumuluzo, essaawa ez'oku bisenge n'ebirala

EMITENDERA MU KUKOLA ENGATTO Y'EKIKONGOLIRO

Tunoonya ebikongoliro ne tubyanika. Okubiwawula n'okubisalamu okusinziira ku sayizi y'engatto. Tubinnyika mu langi okubikyusa endabika. Okulongoosa nga kuwedde, tugattako eddiba nga lipimiddwa n'obuguwa.

Tuteekako soole ekoleddwa mu mipiira gy'emmotoka nga tukozesa gaamu. Bye tukola tubiguza abasuubuzi mu Kampala, abantu ssekinnoomu ne mu myoleso. Engatto y'omukulu ey'ebikongoliro tugitunda 25,000/-, ey'omuto 15,000/-.Essaawa y'oku kisenge ekoleddwa mu bisusunku by'amagi n'ebipapula zitandikira ku 50,000/- n'okusingawo. Ebyokwewunda bitandikira ku 5,000/-.

Okusoomoozebwa okusinga kwa katale akakyali akatono n'ennyingiza ekyali ntono ng'ate twetaaga ekifo ekigazi aw'okukolera. Waliwo endowooza nti, ebisiige bya bbeeyi, bya bagagga, bya Bazungu nakyo ekitukosa. Okuvuganya kwa maanyi n'ebintu ebiva ebweru ate nga bya ssente ntono. Tukyetaaga ebyuma okulinnyisa omutindo n'obungi bw'ebintu bye tukola.

TWATANDIKA NA 8,000/- OKUKOLA AMANDA

Agnes Mugabi 51, owa MUWA Charchoal briquettes akola amanda agafumbisibwa mu kasasiro. Ye mutandisi w'ekibiina kya Kitambuza Village Initiative nga mutuuze w'e Kanyanya - Kitambuza Zooni e Kawempe, musawo mutendeke wabula mu kiseera kino akola ng'omutendesi ku Lugogo Industrial Training Institute. Ekibiina kyatandika mu 2001 ne bammemba 27 okuva e Kitambuza, Kanyanya, Komamboga n'ebitundu ebirala. "Ekimu ku byatutandisa ekibiina kino kulaba nga tulwanirira obutonde bw'ensi nga bwe tugaggawala. Twatandika bakyala ffekka oluvannyuma abaami ne batwegattako.

Twatandika ne 8,000/- okugula ebikozesebwa nga eby'okubumbiramu, kasasiro yabanga wa bwereere. Amanda gano gafumba wakati w'essaawa nnya ne mukaaga

EBYETAAGIBWA MU KUKOLA AMANDA

Kasasiro naddala nakavundira eyeeyambisibwa okukola olusennyente omuva amanda. Obuwunga bwa muwogo obufumbeko, bukola nga gaamu n'okuzitoya olusennyente.Ebbumba, eriyamba okugumya amanda. l Amazzi ageeyambisibwa mu kubumba amanda, ppipa omukuumibwa amazzi.

EMITENDERA GY'OKUKOLA AMANDA

Okukuhhaanya n'okusunsula kasasiro okuggyamu ebitavunda kubanga tukozesa nnakavundira.

Okubikaza n'okwokya okukola ekisiriiza nga kitwala wakati w'essaawa ssatu ne nnya

Ebisiriiza tubiteeka mu kyuma ekibisekula okufuuka ensaano.

Olusennyente tulugattamu obuwunga bwa muwogo ne tubitabulira mu kyuma okumala eddakiika eziri wakati wa 10 ne 20.

Tutandika okubumba amanda nga tukozesa obutiba bw'ebyuma eby'enjawulo.

Tugapanga mu masa ag'obutimba mu kisiikirize we gayisiza empewo okukala. Amanda tugatunda mu kkiro nga emu tugitunda ku 1,000/-. Akatale kasinga mu Bayindi, amalwaliro n'amasomero.

OKUSOOMOOZEBWA

 Kasasiro abeeramu obucaafu n'ebicupa okutusala.

Olumu tufuna wooda mu budde bw'enkuba kyokka nga tulina okwanika kasasiro.

Bakasitoma abamu baagala tubakolere ku bwereere. 

Okwagazisa n'okumanyisa abantu amanda gano, si kyangu.

Waliwo abatukozesa wooda ne batakomawo kutugulako.

Olumu be tuyigiriza basenguka ne tusigaza eddibu ly'abakozi.

Oluusi bannaffe bapima ebirungo ebitatuukanye na mutindo ne byonoona omutindo. Wabula, tufunye ssente z'okwekulaakulanya okuva ku munisipaali e Kawempe.

Bangi ku bammemba baddayo ne basoma okwongera okukuguka mu buyiiya. Abavubuka tebakyenyigira mu bumenyi bw'amateeka kuba tubawadde emirimu.

Tutambudde mu mawanga okuli: Kenya, Dar-es-salaam n'ebitundu by'eggwanga ebitali bimu nga tugenda okutendeka abantu. Ekimu ku bitukuumidde ku mulamwa gwa pulojekiti zaffe, kye tukola tukyagala era tukikolerera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...