
Butto okuva mu moringa
MOLINGA bangi baamulima nga basuubidde okufuna akatale bamugaggawaliremu, wabula ne bigaana olw'okubulwa akatale wano n'ebweru. Ekibi akatale bwe kaabula ate ne wabulawo abamuyiiyaamu amangu okumugattako omutindo.
Bw'otunuulira Molinga eky'obugagga ekimusingako ye butto ava mu nsigo wadde abantu abamulima basinga kutunuulira makoola. Tusobola okugatta omutindo ku molinga naddala ensigo ne tuggyamu butto era ono amanyiddwa nga ‘Ben Oil', wa ttunzi mu nsi yonna.
E Swaziland bamukozesa mu masaawa ag'ebbeeyi, ate amasaawa mwe bamuteeka, ekitongole kya FIFA ekitwala omupiira mu nsi yonna ge kikozesa okubala obudde omupiira kwe guzannyirwa.
Bakozesa molinga kuba si muzito ate nga tatalazza byuma nga kitegeeza nti, akatale ak'Abazungu bwe katyo tetusobola kukayingiramu nga tutwalayo makoola. Ensi nga China zimugaggawaddemu olw'okuba zikola butto ono ne zimuguza kkampuni zino ku ssente eziwera.
Akozesebwa okusengejja amazzi okugaggyamu obucaafu n'okuziyiza obulwadde ng'omusujja gw'omu byenda, entumbi n'ebirala nga wano osobola okumunyweera mu mazzi.
Butto ono era akola nga woyiro gwe basiiga abaana ng'omukozesa teweeraliikiridde mu kifo ky'okukozesa pawuda.
Ayamba ku bantu abalina situka ng'omusiiga mu nviiri ate n'aziyamba okuguma ng'azikuuma nga nnamu bulungi.
Abalunzi b'enkoko nga tezirya bulungi, mwekwate butto ono kuba aziyamba okukula obulungi n'okukola amagi amanene n'okuzongera abaserikale olw'ekirungo kya ‘Ben oil' ekyongera ku bwerinzi bw'omubiri.

Molinga ono era mulungi ku bantu abazimba ebigere naddala abakyala abali embuto. Osobola okunywayo amatondo 10 mu mazzi agabuguma n'otaasa embeera eno. l Alina obulwadde bwa puleesa osobola okunywa ku butto ono kuba ayamba okwoza amasavu amabi mu misuwa ekiyamba ku ntambula y'omusaayi ennungi.
Butto ono era ayamba okwongera ku bungi bw'abaserikale b'omubiri naddala mu bakyala abali embuto abatawaanyizibwa kandida, omusujja n'ebirala olw'okukendeera kw'abaserikale b'omubiri. Wano osobola okumunywa n'okumwesiiga naddala mu bitundu byekyama n'akutaasa ku bulwadde nga kandida.
Abakyala bangi beesiiga ebizigo ebirimu ebiragalalagala ebiyingira mu mubiri ne bicankalanya obutoffaali bw'omubiri gwabwe nga kye kibaviirako okufuna ebintu ebitalina kubabeerako ng'ebirevu.
Kino kiri bwe kityo kuba ekirungo ekya ‘steroids' ekibeera mu bizigo bino kyongeza ekirungo ekisangibwa mu mubiri gw'abasajja ekya ‘testosterone' ekivaako omukazi okukulang'abasajja.
Butto wa molinga ayamba okukwataganya ebirungo by'omubiri gamba empulirizo z'omubiri. Bw'obeera oyagala okwetaasa ku mbeera eno, weesiige butto wa molinga ng'ebizigo era mu mawanga nga Bufalansa, ebizigo ebirimu butto wa molinga bya ttunzi. l Butto wa molinga ayamba okukkakkanya sukaali olw'ekirungo kya asidi ekimulimu ekikkakkanya sukaali.
Butto ono era mulungi ku bantu abalina ekizibu ky'okuzimba eddookooli kuba alimu omunnyo gwa ‘Selenium' n'eminnyo emirala nga ‘Iodine' egiyamba omuntu okuziyiza n'okujjanjaba obulwadde bw'eddookooli.
Butto ono era mulungi ku bantu abamenyeka enjala n'abakala emimwa nga wano omusiiga ku njala ne ziguma, okumusiiga ku mimwa nga liipusitiiki.
Osobola okumufuuyira ku bimera ng'ossa amatondo 20 mu liita z'amazzi 20 n'ofuuyira nga kino kiyamba ebikoola obutayokebwa nnyo musana naddala mu biseera by'ekyeya.
Ggwe alina olususu olutawaanyizibwa embalabe, weekwate butto wa molinga kuba tazibikira lususu kusajjula mbeera.
Butto ono ayamba ku bantu abalina obulwadde bw'ensigo kuba aziyiza omunnyo gwa Sodium okuyitirira mu nsigo ng'agunuunamu.
Ggwe eyeewulira ng'oli munafunafu, osobola okukozesa butto ono n'akuyamba okukwongera amaanyi mu mubiri n'okuzimba omubiri kuba alina omunnyo oguyamba mu kuzimba amagumba, Potassium ayamba omutima era omuntu amukozesa abeera mulamu ddala. Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.