TOP

Entambula y'ekidyeri esannyaladde e Kamuli

Added 31st July 2019

Entambula y'oku mazzi okuva e Kamuli okugenda e Kayunga ekyasannyaladde okuva wiiki ewedde oluvannyuma lw'ekidyeri okufuna obuzibu.

 ekidyeri ekyafunye obuzibu ku mwalo

ekidyeri ekyafunye obuzibu ku mwalo

Entambula y'oku mazzi okuva e Kamuli okugenda e Kayunga ekyasannyaladde okuva wiiki ewedde oluvannyuma lw'ekidyeri okufuna obuzibu.
Obuzibu kyabufunye nga kyakagoba ku mwalo gw'e Mbulamuti ku ludda lw'e Busoga nga kyabadde kiva Nabugaanyi e Kayunga.
Akulira abakozi b'oku kidyeri , Ibrahim Adyebo yakakasizza ensonga eno era n'agumya abantu nti embeera ejja kutereera mu bbanga eritali lyewala.
 Ekidyeri kino kisaabaza abantu abasoba mu 5,000  n'ebidduka nga 450 olunaku. Entambula eba ya bwereere.
 Obuzibu obuliwo kati abagenda emitala balina kwetooloola e Kasambira, Buwenge, Jinja ne Lugazi okuyunga e Kamuli.
Omwogezi w'ekitongole kya  UNRA, Mark Ssali,  yategeeza nti, bakola ekisoboka okufuna sipeeya w'ekyuma, ekyayonoonese.
Mu kiseera kino abavuga amaato bali ku mugano. Basasuza wakati wa 1,000/- ne 2,000/-, kyokka ng'ekidyeri kibadde kya bwereere.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...