TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni asabye ab'e Kabale okukyusa ennima

Pulezidenti Museveni asabye ab'e Kabale okukyusa ennima

Added 1st August 2019

Yagambye nti, mu kifo ky’okulima omuwemba ogukula mu myezi musanvu, ekibalo ekituufu kiba singa omuntu alima obummonde obuzungu obukulira mu myezi esatu, afuna sizoni bbiri n’afuna amagoba mangi okusinga alimye omuwemba. Museveni yawerekeddwaako Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakan Rugunda, minisita omubeezi ow’ebyensimbi David Bahati, ne Minisita omubeezi ow’ebyamayumba Chris Baryomunsi. Yagambye nti, si kibi okwagala obuwangwa naye engeri eggwanga gye liri mu kulwana okutereeza ebyenfuna, abantu balina okukozesa ettaka lyabwe okulima ebintu ebivaamu ssente.

 Museveni ng'atongoza olumu ku luguudo olwakoleddwa e Kabale.

Museveni ng'atongoza olumu ku luguudo olwakoleddwa e Kabale.

PULEZIDENTI Museveni atongozza enguudo mu kibuga ky'e Kabale n'aggulawo ne ofiisi y'ettaka n'akubiriza abantu baayo okukyusa ennima bave ku birime ebirwawo okukula, balime ebyo ebikula amangu ng'obummonde obuzungu.

 

Ekibuga ky'e Kabale kyaweereddwa obuwumbi 13 n'obukadde 500 okuva mu Gavumenti ne World Bank ziyambeko mu kukola enguudo eziweza obuwanvu bwa kkiromita ssatu (3) okuli Kigongi, Nyerere, Nyerere Avenue, Bank Lane, Keira ne Nkunda mu nteekateeka emanyiddwa nga Urban Support to Municipal Infrastructure Development Project (USMID).

Museveni era yakwasizza n'abantu ebyapa by'ettaka lyabwe n'abakubiriza okukola ennyo basobole okweggya mu bwavu.

Yabagambye nti engeri ettaka gye ligenda nga lifunda, kyamakulu okulima ebintu ebivaamu ssente okusinga okulima ebyokulya.

Yagambye nti, mu kifo ky'okulima omuwemba ogukula mu myezi musanvu, ekibalo ekituufu kiba singa omuntu alima obummonde obuzungu obukulira mu myezi esatu, afuna sizoni bbiri n'afuna amagoba mangi okusinga alimye omuwemba. Museveni yawerekeddwaako Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakan Rugunda, minisita omubeezi ow'ebyensimbi David Bahati, ne Minisita omubeezi ow'ebyamayumba Chris Baryomunsi. Yagambye nti, si kibi okwagala obuwangwa naye engeri eggwanga gye liri mu kulwana okutereeza ebyenfuna, abantu balina okukozesa ettaka lyabwe okulima ebintu ebivaamu ssente.

Omu ku batuuze b'e Kabaale yagambye Museveni nti, yiika emu ey'obummonde, agiggyamu obukadde buna buli lulima era ono Museveni yamusanyukidde nnyo n'asaba abalala okumulabirako. Museveni bwe yabadde aggulawo ofiisi y'ettaka yagambye nti, abantu babadde babonaabona okufuna ebyapa nga balina kugenda Ntebe kyokka okuva lwe bagguddewo ofiisi e Kabale, abantu bagenda kwanguyirwa.

Abantu abasoba mu 7,000 be bagenda okuweebwa ebyapa mu ttunduttundu lya Kigezi nga ku bano 5,980 bagenda kuweebwa byapa bya bwannannyini obwenkomeredde ate 1,865 ebyabwe bya ttaka ery'ensikirano. Museveni yasoose kusisinkana bakulembeze ku mitendera egy'enjawulo omwabadde ne bassentebe ba NRM n'abatuma baddeyo basomese abantu engeri y'okweggya mu bwavu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....