TOP

Ebintu bya pulasitiika biwambye okuzimba

Added 1st August 2019

EBY’OKUZIMBA biringa misono gya ngoye ebikyuka buli kaseera nga baleeta enzimba empya, eby’okunyiriza n’ebizimbisibwa byennyini byeyubula okusobola okuwa abazimba ekyenjawulo.W'osomera bino nga waliwo abatandise okuzimba ennyumba nga bakozesa ebintu nga enzigi, tayiro, siriingi n'ebisenge bya Pulasitiika.

 Musinguzi ng'alaga oluggi olukoleddwa mu pulasitiika

Musinguzi ng'alaga oluggi olukoleddwa mu pulasitiika

EBY'OKUZIMBA biringa misono gya ngoye ebikyuka buli kaseera nga baleeta enzimba empya, eby'okunyiriza n'ebizimbisibwa byennyini byeyubula okusobola okuwa abazimba ekyenjawulo.


Mu kiseera kino abamanyi eby'okuzimba olutuuka ku nnyumba asobola okumanya ebikwata ku nnannyini yo okuli: emyaka gye, ebimunyumira, embeera y'ebyokwerinda eri mu kitundu, embeera y'ebyenfuna n'omuntu atambula n'omulembe.

W'osomera bino nga waliwo abatandise okuzimba ennyumba nga bakozesa ebintu nga enzigi, tayiro, siriingi n'ebisenge bya Pulasitiika.

EBINTU BYA PULASITIIKA BYEYONGEDDE
lBrian Musinguzi omukugu mu kukola tayiro za pulasitiika yagambye nti ekika kino kyangu kya kukozesa ate tezitwala seminti mungi ng'ozisiba mu nnyumba yo.
Zino bazipanga bapange nga zeeyingiramu.


lEnkizo endala kye zirina kwe kubeera ng'osobola okuziteeka ku tayiro endala. Omuntu ne bw'abeera apangisa asobola okuzikozesa n'aziggyamu ng'asenguka.
lEkirungi ekirala tayiro zino zibeera n'akabugumu okusinga tayiro endala ezitera okunnyogoga.Okulongoosa kwangu kuba teziyingiramu mazzi ate tezoonooneka mazzi ne bwe gaba gayiseeko.


lBwe zibeera ziddugadde nnyangu za kunyiriza era tekikwetaagisa kuddamu kusiiga langi awaba waddugadde. Kuno kwogatta n'okubeera nga mpangaazi kuba tezitalagga.
Ebisingawo bisange ku muko gw'Akeezimbira ku Lwomukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...