TOP

Eyatta owa bodaboda bamusibye emyaka 35

Added 5th August 2019

OMUVUZI wa bodaboda ku kyalo Kagango mu disitulikiti y’e Nakaseke asaliddwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 35 oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okutta munne bwe baali bakola omulimu gwe gumu n’amubbako pikipiki ye.

BYA SAMUEL KANYIKE

Patrick Lubega (29) yasaliddwa ekibonerezo mu kkooti y'omulamuzi omukulu e Luweero, Vincent Okongo.

Okongo yagambye nti okutemula aba bodaboda mu ggwanga n'ekitundu kyatwala ekya Luweero, Nakaseke ne Nakasongola ne bababbako pikipiki zaabwe kucaase nnyo nga kisaana ebibonerezo ebikakali eri ababikola kitangire omuze guno okusaasaana.

Omusango yaguzza May 28, 2014 ku kyalo Kagango Lukenku bwe yatta Moses Kakooza bwe baali babeera bombi ku kyalo era nga bakolera ku siteegi e Kiwoko n'abulawo ne pikipikiye UDR 747R n'ayolekera Kampala.

Baamulaba ng'agikolerako bodaboda e Nakulabye n'abatebuka n'adduka kyokka yakomawo ku kyalo mu 2016 ng'adduka omusango gw'okubba pikipiki ya mukama we Byaruhanga e Kampala eyali amuyigga ne bamuyoola.

Bwe yasabiddwa okubaako ky'ayogera nga tebannamusalira musango, Lubega yategeezezza nga aba Flying Squad bwe baamunyiga obusajja nga bamukwata obwetaaga okulongoosebwa ssonga alina abaana basatu n'omukyala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...