TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kaaya Kavuma asiibuddwa Lutikko yabooze nga basiibula

Kaaya Kavuma asiibuddwa Lutikko yabooze nga basiibula

Added 6th August 2019

Godfrey Kaaya Kavuma 82, asiibuddwa mu kitiibwa e Namirembe gye baamwogereddeko ng’omusajja atasangika kubanga wadde mugagga abadde muntumulamu, waakisa, atya Katonda era ayagala Buganda ne Uganda.

 Lutikko yabooze nga basiibula Kaaya Kavuma.

Lutikko yabooze nga basiibula Kaaya Kavuma.

Kabaka yamwogeddeko nga musajja we enkwatangabo ate mukwano gwe ddala eyamuyamba ennyo okuva nga Kabaka wa myaka 17.

Yamubudamya mu maka ge e Ethiopia ne Nairobi mu biseera ebyali ebizibu. "Mu maka ga Kavuma gye nnasajjukira n'anteekateeka nga hhenda okufuuka Ssaabataka.

Kavuma yampanga essuubi nti eggwanga lyaffe Buganda n'ensi yaffe byali bisobola okuddawo", Ssaabasajja bwe yategeezezza mu bubaka obwasomeddwa Omulangira David Wasajja.

Kavuma era yakola nnyo mu nteeseganya z'okukomyawo Ebyaffe. Era yakola nnyo mu kukomyawo Kabaka ekimpoowooze.

Yalina omukono mu buli kintu mu nteekateeka z'amatikkira. "Abasajja abakulu abalina emmizi, abatakolerera bitiibwa na kwekkusa nga Kavuma batono ddala. Abantu abalala balina okubalabirako olwo ensi yaffe ebeeremu empisa n'obuntubulamu", Beene bwe yagambye.

Wasajja yabadde ayogera mu lutikko eyakubyeko. Okusaba kwakulembeddwa Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula Dr. George Sinabulya eyategeezezza bw'abadde mukwano gwa Kavuma okuva mu myaka gye 60.

"Kavuma abadde mugagga ku ngulu ne mu mwoyo. Abadde waakitiibwa mu ndabika ne mu kwogera. Abadde waakisa", Sinabulya bwe yagambye.

N'agattako nti obuwombeefu bwe, ekisa n'okutya Katonda bye bimufudde ky'ali. Abalabirizi okuli Wilberforce Kityo Luwalira, Jackson Matovu, James Ssebaggala ne Dr. Michael Ssennyimba bonna baanywezezza ebigambo bya Sinabulya ku Kavuma nti abadde wanjawulo.

Kavuma eyafudde nga July 27, obulwadde bw'ensigo n'omutima aziikibwa leero e Sagala Buwaya.

Essanduuko omuli omulambo yabikkiddwaako olugoye mu langi za bendera ya Buganda.

Ab'e Mmengo baakulembeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga eyagambye nti ssinga teyali Kavuma osanga Mayiga teyandibadde Katikkiro.

"Olumu nnatendewalirwa obuweereza bw'e Mmengo ne njagala okulekulira kyokka Kavuma ne John Katende ne bantegeeza nti sigeza okukuba Kabaka obwami", bwe yagambye.

Kavuma n'ayongerako: Siddayo okukuwulira ng'ekyo okiyisa mu kamwa ko okukuba Kabaka obwami. Nnaabagereka Sylvia Nagginda y'omu ku beetabye mu kusaba.

Gavumenti yakiikiriddwa Nnampala waayo mu palamenti, Ruth Nankabirwa eyagambye: Kavuma abadde muweereza wa Kabaka ate nga ne Gavumenti agiwagira. Batono abalinga Kavuma mu kkowe eryo.

N'agamba: kabineti yayogedde ku Kavuma era Museveni n'ategeeza baminisita be nti Kavuma yawaayo kinene mu lutalo kyokka amwewuunya kubanga abadde teyeemulugunya ng'abalina kye baakola mu lutalo abalala.

Gavumenti yawadde obukadde 30 ng'amabugo. Nnamwandu Miriam Kavuma ng'asiibula mukwano gwe yagambye: tuwangadde ne Kavuma emyaka egisukka mu 50. Anjagadde nnyo mu bulungi ne mu bubi.

"Kavuma alwalidde emyezi munaana. Yasooka kulwala nsigo ekyaddirira misuwa kunafuwa. Ku Lwomukaaga lwe yafudde baakeera kunyumya nga baseka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...