TOP

Bannamateeka batabukidde akulira ISO

Added 6th August 2019

BANNAMATEEKA batwala akulira ekitongole kya ISO Col. Frank Bagyenda mu mbuga z’amateeka nga bamuvunaana kye baayise okutiisatiisa wamu n’okuwamba abantu omuli ne bannamateeka n’ababasibira mu bifo ebitalambikiddwa mu mateeka.

 Col. Frank Bagyenda

Col. Frank Bagyenda

Bino biddiride Looya Patrick Mugisha okwatibwa aba ISO gye buvudeko okumala wiiki nnamba ng'akuumirwa mu kifo ekitategeerekeka yadde nga yamaze n'ayimbulwa ku Ssande nga tagguddwaako musango gwonna.

Akulira ekibiina omwegattira bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society, Simon Peter Kinobe yagambye nti okusinziira ku ssemateeka w'eggwanga ekitongole kya ISO tekirina buyinza kukwata na kusiba muntu yenna mu kifo kyekusifu wabula omulimu gwakyo gwa kuwabula mukulembeze w'eggwanga ku bikwatagana n'ebyobutebenkevu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...

Omugagga Hamis Kiggundu ng'annyonnyola

Omugagga Ham azzeemu okuttu...

OMUGAGGA Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham agonzezza banka n'ekkiriza okuggyawo omutemwa gw'okusooka okusasula...