TOP

Namirembe ezimbidde abaserikale ennyumba

Added 6th August 2019

Namirembe ezimbidde abaserikale ennyumba

 Aba Poliisi nga balagibwa ennyumba ebaweereddwa

Aba Poliisi nga balagibwa ennyumba ebaweereddwa

OBULABIRIZI bw'e Namirembe bukwasizza Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Moses Kafeero ennyumba z'abaserikale ng'emu ku nkola ey'okubaddiza ku birungi bye bakolera eggwanga.

Obulabirizi nga buyita mu kitongole ky'ebyettaka, bukwasizza Kafeero ennyumba za mizigo esatu nga ziwereddwayo eri abaserikale ku poliisi ya Namirembe Police Post ng'eno ekolera kumpi ne Lutikko ye Namirembe.

Ssentebe w'ekitongole ky'eby'ettaka mu bulabirizi bw'e Namirembe Ven. Godfrey B.K Buwembo ategezezza nti obulabirizi bwaasalawo okusiima okuwa offiisi ennyumba eziyinza okuyambako okukola emirimu nga tebasumbuyibwa wakati mu kutebenkeza ekitundu.

Ye omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emniriraano Patrick Onyango yebazizza nnyo ekkanisa okukwataganira awamu nabo mu kutumbula eby'okwerinda mu kitundu nga babasiima olwebyo bye bakoze.

 

Agambye nti abaserikale bangi babadde basula wala ate nga nekifo mulimu batono nga mu kino ekikoleddwa kya kuyamba okwongera ku bungi bw'abaserikale ssaako nabo okukola nga balina omutima gumu.

Ku nnyumba ezaazimbiddwa kwaatereddwako ne kabuyonjo ennungi nga nazo zakukozesebwa abaserikale ku police post ya Namirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...