TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyalwala ensigo n'akawago yeraliikirizza abazadde

Eyalwala ensigo n'akawago yeraliikirizza abazadde

Added 7th August 2019

Eyalwala ensigo n'akawago yeraliikirizza abazadde

OMWANA ow'emayaka 6 eyalwala ensigo zombi n'akawago yeraliikirizza bazadde be oluvannyuma lw'okujjanjaba obulwadde kyokka ne bweyongera kukula bukuzi.

Nelson Muwaya 6,yataawanyizibwa obulwadde bw'ensigo n'akawago nga mu kiseera kino ali mubulumi obutagambika olw'ensonga nti afuuyisa  musaayi.

Okusinziira ku nnyina wa Muwaya,Nakalema Fiina ow'emyaka 30 omutuuze w'e Nagojje mu District y'e Mukono agamba nti mutabani we yatandika okufuna obukosefu mu 2017 era ne baddukira mu ddwaliro e Kayunga ne bamukebera ne babategeeza nti omwana yalina Typhoid era ne batandika kujjanjaba bulwadde.

Wabula Nakalema agamba nti embeera yagenda nga eyongera kwonooneka naye nga bwetereeramu ko naye baagenze okulabanga obulwadde butabukidde ddala kwekuddukira e Mulago gyebaakeberedde omwana ne bazuula nga ensigo zombi ndwadde n'akawago kaakwo

Ono agamba nti abasawo baamugambye nti ensigo emu erimu amasira eky'obulabe nga yetaaga okulongoosebwa mu bwangu ddala okusobola n'okujjanjaba akawago kaakwo.

Nakalema agamba nti e Mulago baabasabye 1,000,000shs okulwangoosa omwana ono naye ssente zonna zibaweddeko nga mu kiseera kino tebalina wadde ekikumi kubanga bakoze kyonna naye ssente zigaanye.Wano ono weyasabidde abazira kisa okubaddukirira basobole okutaasa obulamu bw'omwana waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.

Mukaku ( ku kkono), Kato Lubwama ne Nyanzi ( owookubiri ku ddyo) mu lumbe.

Ekiri mu lumbe lwa Sebaggal...

Gavumenti esasudde obukadde 60, eddwaaliro lya IHK ze libadde libanja okujjanjaba Hajji Nasser Ntege Sebaggala...

Sebaggala ng’ayogera eri abawagizi be ku kabaga k’okumaliriza emisomo akaamutegekerwa ku Pope Paul e Lubaga mu 2003.

Ensonga lwaki Sebaggala bam...

ALHAJJ Nasser Ntege Sebaggala (Seya) afudde alese ekiragiro ekirambulula engeri gy’alina okuziikibwamu. “Tuli Basiraamu...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...