TOP

Bakubye aba bodaboda 3 omulundi gumu

Added 8th August 2019

Bakubye aba bodaboda 3 omulundi gumu

 Pookino Mayiga ng’ayogera mu kukungubagira omugenzi Ssemanda eyattiddwa ne batwala pikipiki ye.

Pookino Mayiga ng’ayogera mu kukungubagira omugenzi Ssemanda eyattiddwa ne batwala pikipiki ye.

ABATEMULA aba bodaboda bongedde okusattiza abantu bwe balumbye ab'e Masaka ne bakuba abavuzi ba bodaboda bana ennyondo ku mitwe mu lunaku lumu ne battako basatu ate omu apooceza mu ddwaaliro Ekkulu e Masaka n'ebiwundu era nga bonna pikipiki zaabwe zaatwaliddwa.

Mu kiro ekyakeesezza eggulo ku Lwokusatu, omuvuzi wa bodaboda Twayiru Iganiro 34, abadde akolera ku siteegi y'e Kyawaggoonya e Lwengo baamusse oluvanyuma lw'okukubwa ennyondo ku mutwe.

Kigambibwa nti ono abaamusse baasoose kumukubira ssimu okuva awakaawe ku kyalo Kaalubanda mu ggombolola y'e Lwengo Rural ne bamuyita abatwaleko mu kifo ekitamanyiddwa ku ssaawa 11:00 nga busaasaana era ne bamutta ne btwala pikipiki ye ekika kya Bajaaj Boxer nnamba UEY 741C.

Poliisi y'e Mbiriizi omulambo yaguggyeeyo n'egutwalibwa mu ggwanika e Lwengo ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Abalala abattiddwa kuliko; Dan Ssemanda 23, abadde avugira ku siteegi ya Parkyard mu kibuga Kaliisizo ng'ono abaamusse baamupangisizza ssaawa nga 2:00 ez'ekiro ku Lwomukaaga ng'ono banne n'abooluganda babadde tebaddangamu kumuwuliza okutuusa omwana w'essomero eyabadde alinnye omuti gwa ffene ku kyalo Nninzi mu Kaliisizo Town Council bwe yalabye omulambo gwe wansi wa ffene okumpi n'ekibira kya kalittunsi ekiri okumpi ddala ne Klezia y'ekisomesa ky'e Nninzi ku Lwokubiri n'akuba enduulu eyasombodde abantu ne bamutegeera.

 

Ssemanda pikipiki gye yabadde avuga Bajaj Boxer nnamba UER 512F yatwaliddwa era abaamusse baalese bamusibye emiguwa ng'emikono bagisibidde mabega ng'emikono bagigasse n'omutwe era ng'omulambo gwe gwasangiddwaako ebiwuundu eby'amanyi ku mutwe kwe baamukubanga ennyondo nga tebannamutta.

Ssemanda yalese omukazi Edrine Nakyanzi gw'abadde yaakawasa emyezi ena gyokka ng'ono kigambibwa nti era yamulese n'olubuto olubadde lukyali oluto nga bakira akaaba alaajana nga bw'amulese n'olubuto nga tamanyi kiddako.

Omulala eyattiddwa ye Paul Katoogo 28, ng'ono abadde avugira bodaboda ku siteegi y'e Beeteleemu mu kibuga Kyotera. Kigambibwa nti ono eyamusse yamupangisizza ku siteegi eno okumutwala ku ssomero lya Kyotera St. James ku ssaawa 3:00 ez'ekiro kyokka nga yadde wano emisana bamutwalirawo 2,000/- naye olw'okuba bwabadde kiro n'amusaba ssente 15,000/- omusaabaze kye yakkirizza wabula bwe baatuuse ku kasaka n'amwefuulira n'amukuba ennyondo n'amutta.

Ono pikipki ye Bajaj Boxer nnamba UEV 351C yakuuliise nayo, era ng'okusinziira ku banne okuli Rogers Kiiki, baategeezezza Bukedde nti omulambo gwa munnaabwe baagulabye ku makya era poliisi y'e Kyotera ye yaguggyeewo n'entandika n'okukola okunoonyereza. Katoogo yaziikkiddwa ku kyalo Kasambya - Beteleemu mu disitulikiti y'e Kyotera wakati mu bakungubazi okuwanjagira Gavumenti ku ttemu erisusse n'okusaba abantu abatuma ababbi bano okubba pikipiki olwo bbo ne bazigula bakwatibweko n'omukono ogw'amaanyi.

Omulala eyakubiddwa ennyondo ye Godfrey Lukwago 27, ng'ono avugira mu kibuga Masaka era apooceza mu ddwaaliro Ekkulu e Masaka oluvannyuma lw'okupangisibwa omusaabaze amutwaleko ku Lutikko e Kako ku ssaawa 1:00 ey'oku makya kyokka baabadde baakaweta ku ligenda e Kako n'amwefuulira n'amusala ekyambe ku bulago n'agwa wansi olwo n'abagulawo mangu pikipiki Bajaj Boxer nnamba UET 639R n'abulawo nayo.

Ono abadduukirize baamuyoddeyodde mangu ne bamutwala mu ddwaaliro e Masaka gy'ali mu kujjanjabibwa era ne bategeeza ku poliisi eyataandise okukola omuyiggo n'okutegeeza ku poliisi endala mu ggwanga ku bunyazi buno.

POOKINO ALABUDDE KU NKUZA Y'ABAANA

Pookino Vincent Ssebbowa Mayiga yasiinzidde mu kuziika Dan Ssemanda eyattiddwa e Kaliisizo ng'okuziika kwabadde mu maka ga bakadde be, Paasita Matayo Kakooza ne nnyina Paulina Nampeera ku kyalo Kaswa - Lusaka okumpi ne Kyannamukaaka ne yennyamira olw'enkuza y'abaana b'ensangi zino abatalina mpisa na ddiini nga bano be bafuuse ekizibu eri eggwanga n'okwenyigira mu bikolwa nga bino.

Yennyamidde nti eggwanga lyandiba mu katyabaga kennyini kuba eggwanga ligenda kusigala mu mikono gy'abavubuka nga bano abatagunjuddwa bulungi ng'abasajja abakulu bafudde, ekintu kye yagambye nti kya bulabe ddala n'asaba abazadde okufaayo ku kugunjula abaana obulungi nti kuba abakola bino bavubuka.

Yasabye abakulembeze mu byalo okuva ku bya, Gvaumenti etuyambe wabula bbo bennyini bazzeewo enkola y'okuyambako ku Gavumenti okunyweza ebyokwerinda ku byalo na buli muntu okubeera mbega wa munne n'okumanya abantu abamala gayingira mu byalo kw'ossa abo abalabika obulungi, abambala obulungi, abalya obulungi kyokka nga tebamanyiddwa mirimu gyabwe mwe baggya ssente.

Pookino Mayiga era yennyamidde olw'abantu abayitibwa abagagga abagambibwa okubeera embaega w'okutuma n'okussaawo akatale ku pikipiki eziba zibbiddwa olwo bbo ne bazigula ne batema sipeeya n'asaba bano abeebyokwerinda okubakwatako n'omukono ogw'ekyuma kuba battisizza abavubuka babodaboda bangi so nga n'obusente bwe bawa ababbi bwa munyoto.

ABALALA ABATTIDDWA E LWENGO Ku ntandikwa y'omwezi oguwedde abavuzi ba bodaboda babiri battibwa mu disitulikiti y'e Lwengo. Abattibwa kuliko; 1 Ssentebe w'abavuzi ba bodaboda bonna e Lwengo, Ronald Nkangi, ng'ono yali avugira ku siteegi e Mbiriizi, ono baamutta ne bamusuula mu ffaamu y'omugagga e Mbiriizi omulambo gye gwasaangibwa era pikipki kwe yali ne baagitwala. 2 Roger Mulindwa eyali avugira e Kinoni, omulambo gwe baagusuula ku kyalo Kyamaganda okumpi n'e Kinoni era naye pikipiki baagitwala.

POLIISI EKUTTE EYABBYE EY'E MASAKA

Poliisi e Masaka akawungeezi ku Lwokubiri yafunye amawulire okuva ku poliisi y'e Mityana nga bwe bakutte pikipiki eriko ennamba ezaabadde zibategeezeddwa nga bakutte n'eyabadde agibbye eyategeerekese nga ye Marvin Kibuuka era ng'ono poliiisi y'e Masaka yamunonyeeyo ne pikipiki eno n'emuzza e Masaka avunaanibwa. Kigambibwa nti ono aliko Omugagga gwe bakyagaanyi okwogera ng'abeera e Mityana gye babadde bagenda okugitunda asobole okutemamu sipeeya.

E KYOTERA WALIWO ATAASIDDWA Poliisi e Kyotera yataasizza omuvubuka atannategeerekeka mannya ng'ono aba Bodaboda e Kyotera baamugguddeko ekiyiifuyiifu ne munne omulala eyadduse ne bamukuba nga bamulumiriza okubeera mu kabinja k'ababatadde ku bunkenke nga babanyagako pikipiki zaabwe oluvanyuma lw'okutta bannyinizo..

Ono yaggaliddwa ku kitebe kya poliisi e Kyotera ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Paul Kangavve, yategeezezza nga poliisi n'abeebyokwerinda abalala e Masaka bwe bakwataganye okuzuula abatemu abatta aba bodaboda wabula n'alabula n'aba bodaboda okutandika okwekengera abantu naddala be batambuza mu ttumbi n'okwewala okutambuza abantu abasukka mw'omu ku pikipki kw'ossa okusaba aba bodaboda okukendeeza ku budde bwe batambulirako ekiro.

omulundi gumu Marvin Kibuuka eyakwatiddwa ne pikipiki eyabbiddwa e Masaka. Eyasimattuse okuttibwa e Masaka ng'alojja. Roger Mulindwa yattirwa Kinoni. Roger Nkangi yattirwa Mbiriizi. Kangavve Abantu abaakuhhaanidde we battidde Iganiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...