TOP

Omwana abuze, abamuwambye basaba 1,000,000/-

Added 8th August 2019

mwana abuze, abamuwambye basaba 1,000,000/-

FAMIRE esattira olw'omusajja atanategeerekeka okubakubira essimu ez'oluleekereeke ng'abasaba 1,000,000/- okubaddiza omwana waabwe eyabuzibwawo ng'ava ku ssomero ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Abazadde Erina Nekesa ne John Okisata abatuuze b'e Bulesa mu ggombolola y'e Busukuma mu disitulikiti y'e Wakiso be basattira olw'okubuzibwawo kw'omwana waabwe, Brenda Atima 11, omuyizi mu P6 ku ssomero lya Noor Islamic P/S Bugumba mu disitulikiti y'e Iganga. Yabula wiiki ewedde kyokka abaamubba babasaba ssente okumukomyawo.

Winnie Nabukenya ssenga w'omwana nga y'abadde abeera naye e Nakirurwe mu Ggombolola y'e Lweleera Magogo mu disitulikiti y'e Iganga agamba nti amaze ne Atim emyaka esatu ng'ava mu maka ge okusoma. Wabula ku lwokutaano nga August 2,2019, Atima y'ava awaka ku ssaawa 1:00 eyookumakya okugenda ku ssomero nga bulijjo. Bwe zaasukka mu ssaawa 12.00 ezakawungeezi mwatera okuddira ne ngenda ku ssomero okulaba ogubadde.

Nasangayo omusomesa eyantegeeza ng'abaana bwe baagenze mu mpaka z'okuyimba era nantegeeza nti ssinga bakomawo kikeerezi bajja kusula ku ssomero naye bwe buba bukyali baakubata baddeyo.

Naddayo ewaka, enkeera ku ssaawa 3:00 ez'okumakya nakubira omukyala ono nga mubuuza omwana wabula n'akantema nti baakomyewo ssaawa 2.00 ez'ekiro era ne babasindika okuddayo eka kyokka owange teyatuuka.

Banne aboku muliraano bantegeeza nti baakomawo naye era ne baawukana nga buli omu akyama awaka. Ensonga nazitwalo ku poliisi omusango guli ku fayiro nnamba SD:Ref:70/03/08/2019 era okunoonyereza ne kutandikirawo. Ku ssande twazudde ebitabo bya Atima nga bisuuliddwa mu kasiko akali okumpi n'ennyumba ya mikwano gye.

Era ku okuva ku Ssande nfuna essimu enkubira ng'ensaba ensimbi okuzza omwana. POLIISI EYOGEDDE Erisama Lukanga adduumira Poliisi y'e Iganga agamba nti ensonga zino zaabatuuseeko era baatandikidde okunoonyereza okuzuula wa omwana ono w'ayinza okuba era ani ali naye.

Wabula agamba nti okusinziira ku baana mikwano gya Atima be baabuuzizza bagamba nti ku Lwokutaano bwe yali ava awaka yatoloka butolosi nti era yalina 5.000/- n'abategeeza nti ye akooye okutulugunyizibwa ab'awaka, nti era ssaawa yonna ayagala kutoloka addeyo e Kampala mu bazadde be awone emiggo gya ssengawe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...