TOP

Obulwadde bw'ekiwanga bw'olina okwerinda

Added 8th August 2019

Obulwadde bw’ekiwanga bw’olina okwerinda

 Omuvubuka atawaanyizibwa alaje ng’asiimuula ennyindo.

Omuvubuka atawaanyizibwa alaje ng’asiimuula ennyindo.

Abantu bangi batawaanyizibwa obulwadde bw'ekiwanga abamu ne bakiyita alaje, abalala sayinaasi wadde nga tebannagenda kukeberebwa naye ng'oluusi obuzibu buva ku kirala. Endwadde z'ekiwanga zizingiramu obulwadde obukwata ennyindo, amatu n'emimiro. Dr. Emmanuel Kawalya Katende, ow'eddwaaliro lya St. Theresa Medical and Diagnostic Chambers Kigoma-Wakiso agamba nti, obulwadde bw'ekiwanga bwa bika bingi era buli bumu bulina ekibuleeta.

Annyonnyola bw'ati: 1 Obulwadde obukosa obutuli bw'ennyindo obukola eminyira (Atrophic Rhinitis): Buno bwe bulwadde bw'ekiwanga obukwata mu butuli bw'ennyindo obukola eminyira nga buva ku bububi obugatta ku misuwa egitambuza omusaayi okunaabuuka era ng'obulwadde buno businga kukwata bakyala.

EBIVAAKO OBULWADDE BUNO l Okubeera n'akawuka ka siriimu kuba abaserikale b'omubiri babeera bakendedde ng'obulwadde bwanguyira okukwata n'okunafuya omubiri. l Okulya obubi omubiri ne gutafuna biriisa bye gwetaaga okusobola okuwa abaserikale abalwanyisa endwadde amaanyi okukola omulimu gwabwe.

l Obulwadde bwa kabootongo obutajjanjabibwa mangu ate mu butuufu. Kw'olabira abulina

l Okuzibikira obutuuli bw'ennyindo n'okaluubirirwa okussa nga kw'otadde okufeesafeesa.

l Okubeera n'ekibobe nga tosobola kuwunyiriza. l Okuvaamu omusaayi mu nnyindo okutali kwa kwerumika.

l Okwerumika olw'obusuwa obuleeta omusaayi mu nnyindo okwabika.

l Okuziyira ne bwe wabaawo akantu katono katya akabisse ku nnyindo zo.

l Okugaziwa kw'obutuli bw'ennyindo olw'okulwanagana n'okussa.

ENGERI GYE BUJJANJABIBWA Omusawo omukugu okukwekebejjebwa ennyindo, amatu na'emimiro okuzuula obuzibu we buva n'oweebwa eddagala. Okukozesa ekyuma kya X-Ray okulaba awali obuzibu n'enzijanjaba esaanidde okusobola okuyambibwa.

2 Okugejja kw'emisuwa gy'omu nnyindo (Allergic rhinitis - Alaje): Okugejja kw'emisuwa mu nnyindo egibeera gikoseddwa nga kw'otadde n'okumyukirira, okuzimba ennyindo era olububi lw'ennyindo luzimba olw'omubiri okusobola okulwanyisa obuwuka obuleeta obulwadde buno.

EBIVAAKO OBULWADDE BUNO Okubeera okumpi n'ebintu omubiiri gwe bitakwatagana nabyo. Obulwadde buno oluusi butambulira mu musaayi, ssinga wabaawo owooluganda lwo oba abazadde bo nga babulina naawe osobola okubufuna.

KW'OBULABIRA l Okuziyira nga kw'otadde okufeesafeesa ng'okaluubirizibwa okussa.

l Okunyizaanyiza ng'eminyira mitono.

l Obunyira obw'amazzi okufuluma mu nnyindo.

l Okusiiyibwa amaaso, ennyindo, amatu n'emimiro.

l Okufuluuta nga weebase.

l Okukolola nga tewavaayo kikolondolwa. 3 Sayinaasi: Buno bwe businga okukosa ekiwanga era nga kiva ku muntu abadde n'obulwadde bwa alaje.

EKIBULEETA l Bw'obeera okumpi n'ebintuomubiri gwe bitakwatagana nabyo okugeza enfuufu, empumbu y'ebimuli, obunnyogovu n'ebirala.

l Ekintu kyonna okuyingira mu mubiri naddala mu nnyindo.

l Obuwuka obuleeta endwadde nga bukwata ebitundu ebiyamba omuntu okussa okuva ku mawuggwe, emiwaatwa egiyisa empewo n'ennyindo.

l Ssinga okuliibwa bubi erinnyo obusiwa obukwatagana n'ekiwanga ne bukosebwa

l Obuwuka obusirikitu. Obubone ro l Obulumi mu bulago nga kw'otadde okusaasaanira ebitundu ebirala mu mubiri.

l Okumyuukirira kw'ennyindo, amaaso n'obulago.

l Okulumizibwa ebitundu eby'enjawulo ng'omuntu oluusi abeera ng'alina n'ekizimba.

l Okukulukuta eminyira nga gitangaala.

l Okuziyira.

l Okusiiyibwa emimiro. Okutawaanyizibwa mu kussa naddala nga weebase. Okujjanjaba Okwewala ebintu omubiri gwe bitakwatagana nabyo kuba bisajjula embeera. Okufaayo okwejjanjabisa naddala obulwadde bwa ssennyiga.

Okulongoosebwa ensanjabavu ezirwanyisa obuwuka obulumba omubiri nga zino zibeera zizimbye nga zirina okulongoosebwa. Okufumba amazzi omuntu ne weeyoteza. Okufuna eddagala erikukkakkanya ku bulumi n'okutonnyeza eddagala mu nnyindo ezikukkakkanya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...